Akulira eby'okulonda mu Elgon Region, Hajjat Sarah Bukirwa alabudde abagenda okwewandiisa ku bifo by'obubaka bwa paalamenti obutagezaako kukuba nkungaana kuba ekiseera ky'okunoonya akakulu tekinnatuuka.
Bukirwa ategeezezza nti bano baalagiddwa kusisinkana abantu baabwe mu bifo bye baalonze okubayozayoza nti kyokka ssi kukuba kampeyini era abaategezezaako poliisi bebokka abajja okukkirizibwa okusisinkana abantu baabwe.
Elgon Region erina disitulikiti 17 okuli Bukwo. Kapchorwa, Kweni, Bulambuli, Butaleja, Mbale city, Mbale, Manafwa, Namisindwa, Buduuda, Tororo, Busia. Butaleja, Pallisa, Butebo, Kibuku ne Budaka