EYALI munnamawulire wa Leediyo Uganda kati emanyiddwa nga UBC, omugundiivu Ssaalongo Christopher Ddamulira Kyeyune 92, afudde bannamawulire nab’ekika kye ne bamutenderezza.
Katikkiro w'ekika ky'Akayozi era nga mutabani w’omugenzi Ddamulira, Banadda Bagandanswa ategeezezza Bukedde nti kitaawe yakubiddwa situloko (Stroke) ku Lwokusatu ne bamudusa mu dwaaliro e Mulago gye yafiiridde ku Lwokuna ekiro.
Omukulu w'ekika kino Kizito Batuuka Kafumu atendereza omugenzi olw'emirimu enkumu gyakoledde ekika okuli okuwereeza nga Katikkiro w'ekika ate okuzaala n'okukuza abaana Kati abagasa ekika n'eggwanga lyonna.
Omulangira Kayondo Zambogo ategeezezza nti olumbe lukumiddwa mu maka gw’omugenzi e Kaazo-Kawempe webanava okugenda e Zirobwe gyagenda okuziikibwa enkya (Lwamukaaga).
Munnamwulire Ndiwalana Kiwanuka eyakolako n’omugenzi amwogeddeko ng’eyali omuntu mulamu assa ekitiibwa mu buli muntu.
Agambye nti yadde yali mukulu mu myaka naye bwe yegatta ku Leediyo Uganda naweebwa obuvunaanyizibwa bw’okunsula amawulire Ddamulire geyasoma nga ku leediyo Uganda ne ku ttivvi ya UTV, yayamba nnyo ekitongole bye byamawulire okukula.
Kiwanuka agamba nti Musisi yagasisa bannamawulire bangi olulimi oluganda n’omulimu gwa mawulire.
Yayongeddeko nti Ddamuli ku kusoma amawulire yali agattako emirimu emirala gye yakoleranga mu kitongole kya masannyalaze ekyayitibwanga Uganda Electricity Board (UEB) kati ekiyitibwa Uganda Electricity Distribution Company Limited (UDCL).
EBIMU KU BYAFAAYO BY’OMUGENZI
Ddamulira yakyaka nnyo mu myaka gye 90, olw’engeri gye yasomangamu amawulire ku leediyo ne Ttivvi ng’ono yegatta ku Leediyo Uganda mu 1965.
Leediyo za FM olwajja neyegatta ku Ssanyu FM eyo gyeyava nadda ku Akaboozi ku bbiri gyeyawumulira emirimu gy'okusoma amawulire mu 2002
Ddamulira Yazaalibwa 15/09/1930, ku kyalo Konko e Zirobwe-Luweero, Bulemeezi nga bakadde be bagenzi Yosam Ssebuyira ne Aisha Namutebi Mukulu-Abuuzibwa