Amawulire

Abasawo abali mu kugesebwa bakukulumidde Gav't olw'okubaggyako ensako

ABASAWO abakyagezesebwa bakiikidde Gavumenti ensingo ku ky’okulekerawo okubawa ensako   gyebabade bafuna nga bakyagezesebwa mu malwaliro gavumenti.Bagamba nti kino kyakubamalamu amaanyi okukola emirimu gy’obusawo ekiyinza okukosa abalwadde.

Abamu ku bakulembeze b'ebiina by'abaswo nga bamaze okwogera ne bannamawulire
By: Nsimbi Ponsiano, Journalist @New Vision
ABASAWO abakyagezesebwa bakiikidde Gavumenti ensingo ku ky’okulekerawo okubawa ensako   gyebabade bafuna nga bakyagezesebwa mu malwaliro gavumenti.
Bagamba nti kino kyakubamalamu amaanyi okukola emirimu gy’obusawo ekiyinza okukosa abalwadde.
 
Okwemulugunya kuno bakukoledde mu nsisinkano gyebabademu n'abakulira ekibiina ekigatta bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society ku kitebe kyabwe mu Kampala.
 
 Pulezident we kibiina ekitwala abasawo ekya Uganda Medical Association Dr.Frank Asiimwe ateegezezza nti abasawo abali mu kugezesebwa babeera tebakyali bayizi kubanga yunivaasite zibeera tezikyabavuanyizibwako era bawandisibwa mu kakiiko Uganda Medical and Dental Practitioners Council nga bwebatyo batwalibwa nga basawo.
 
 Bwatyo ayamabalidde abatwala minisitule ye by’obulamu  eyavudde nelangirira nga bwetagenda kuddamu kuwa basawo bano nsako yabuli mwezi nga besigamu kubula lya ssente.
 
 Anyonnyodde nti ebbago lino lyebayiseemu okugyawo ensako eno baakikoze mu bukyamu era betaaga okudamu okukyekenenya kubanga kya bulabe nnyo era bannayuganda naddala abawejjere.
Abakulembeze b'abasawo nga bawayaamu

Abakulembeze b'abasawo nga bawayaamu

Dr.Asiimwe agambye nti Gavumenti bweba teyagala kusasula basawo bano erina okulekerawo okubakozesa mu malwaliro gaayo .
Yawezze nga bwagenda okutula ne basawo banne okuva mu bukugu obw’enjawulo   bademu okwetegereze ebbago lino balabe engeri gyebayinza okulitereza ku lw’obulungi bw basawo bano abali mu kugezesebwa.
 
Ye Pulezidenti w’abasawo abali mu kugezesebwa Dr.Jacob Mwanda agambye nti ekyakoleddwa kyakoleddwa mu mutima mubi era gavumenti tesubira basawo kusigala mu malwaliro gaayo nga tebasasulwa olw’ensonga nti balina ebyetaago ng’abantu bye balina okwetusaako okusobola okukola emirimu gyabwe.
 
Agambye nti gavumenti eyolekedde okutika amatendekero omugugu gw’okulabirira abayizi bano era kiyinza okuvaako okufulumya abasawo ab’ekibogwe wamu n’okukanda abalwadde ssente.
 
Eyaliko Pulezidenti w’e kibiina kya Uganda Medical Association Dr. Ekwaro Obuku yategeezezza nti emirimu egikolebwa abasawo  gizza amagoba mangi eri gavumenti okusinga n’ensako entono gyebabade babasasulwa nasaba  gavumenti okukwata ssente zegenda okufisa ku kugyawo okujaguza ennaku enkulu ziweebwa abasawo bano.
 
 Ye Ssabawandiisi w’ekibiina kya pharamaceutical society of Uganda Dr.Stephen Lutoti agambye nti gvumenti teyebuza ku basawo ng’eretta ebbago lino ekintu eky’obulabe eri omulimu gwabwe.