MUGANDA wa Kafeero eyabaddewo nga baziikula ebisigala bya mukulu we ayogedde ebiwuniikiriza bye yalabye yenna n’amera olutiko nga kati alojja bulojja kye yayise obulogo obufumbekedde mu nsi eno!!
Abubaker Nende nga mu kiseera kino ye taata w’abaana ba Kafeero aliwo yannyonnyodde Bukedde nti bye baasanze mu ntaana ya Kafeero buli lw’abijjukira enviiri zimuva ku mutwe yenna n’amera olutiko kubanga byamukubye wala nnyo nnyo nga ne gye buli kati alinga ali mu birooto.
Muganda wange twamusanze akyali mulamba bulungi nga bwe yaziikibwa okuggyako nti ennyama yonna yaggwa ku magumba naye ekyankubye encukwe n’ensisi ly’eddongo lye twasanze ku ngumbagumba z’ebisigala bya Kafeero!", Nende bwe yategeezezza bannamawulire ng’ali n’abamu ku bantu ba ffamire.
Yagambye nti mu ntaana ya Kafeero baasanzeemu bye yayise ebyawongo ebyamuwagikibwa mu buli kasonda, mu nsawo z’essuuti gye baamuziikamu, ggita ne wansi we baamugalamiza.
ENJUKI
Yannyonnyodde nti bwe baatemye enkumbi esooka ku malaalo, enjuki ne ziwamattuka eri ne ziyoogaanira awaabadde abaabadde bagisimula. Ng’embeera ekkakkanye ng’enjuki ziweddewo mu kayumba omuli amalaalo, enkubi, ebitiiyo n’ensuuluulu byazzeemu okusima enkokoto ey’amaanyi n’obutimba obugumu ebyamuteekebwako emyaka 19 egiyise, kye bazzeeko okulaba by’ebintu bye bataasoose kutegeera nga biri mu bucupa obwatika n’obwa pulasitiika.
Ffenna twekanze okulaba obucupa obutonotono 15 obwapakirwamu ebutiititi n’ebikoola ng’obulala babugasseemu n’obubugobugo obutini ne babwetolooza omulambo gwa Kafeeero.” Nnende bwe yattottodde.EBYAWONGO
Obucupa obumu bwabadde mu kifuba kya Kafeero nga ku buli ludda waliyo kamu. Obulala awo nga mu kiwato ku buli ludda. Obulala bubiri bwasangiddwa wakati mu magulu ge. Olw’okuba amalaalo okugasimula ku Mmande yasangiddwa eri wamu nga teyataataaganyizibwako, ekyo
okusinziira ku Nende kirabika ebintu ebyo byateekebwamu mu kumuziika.
Nabyo byasangiddwa bitandise okusensebuka nga bigenda bifuuka ettaka nga ssanduuke mwe yaziikibwa bwe yabadde yafuuka nga yakunkumuka ng’empumbu.
Ebigambibwa okuba ebyawongo ebirala byasangiddwa mu ggita eyamuziikibwa nayo nga yabaddemu obucupa bubiri. Obulala bwabadde baabwalirira wansi we beebasa ssanduuke mwe yaziikibwa.
Nende agamba nti, obucupa bwonna baabuggyeyo n’abwokya era bwe bazzeemu okukunganya amagumba ga Kafeero (agaabadde nga skeleton), ebyo tebaabizzizzaayo wansi.
‘Taata oyo omuto’ awanuuza nti abaateekako ebintu ebyo be bamu ku abo abaalina ppulaani y’okubba ebintu bya Kafeero, ng’okusinziira ku mbeera z’ensi, baali bagezaako kusiba kye yayise omuzimu oba ekintu ekirala kyonna ekitategeerekeka.
Nende azaalibwa omugenzi Ssaalongo Umar Wasswa Nanganga e Bbira mu disitulikiti y’e Wakiso gye yaziikibwa, kyokka nga Kafeero yaziikibwa Bukunja mu Kyaggwe olw’enkaayana ezaaliwo. Nanganga yali yeeyita taata wa Kafeero kyokka Kafeero nga tannafa yabuulira abantu abaamuli ku lusegere nti Nanganga tabangako kitaawe wabula yamukuza bukuza.
PULOGULAAMU Y’OKUGGYAKO ABAANA OMUSAAYI ETANDIKA LEERO BW’ETI;
Bagenda kukola DNA z’abaana ba Kafeero za mirundi ebiri, okwewala okukaayana mu baana ng’okwaliwo lwe baasooka okubakebera abamu ne bagamba nti, ebyavudde mu musaayi byakyusiddwamu.
Bagenda kukeberebwa mu kifo kya Gavumenti e Wandegeya ekya Government Analytical Laboratory ate e Naguru bagenda ku kitebe kya poliisi era nakyo ekivunaanyizibwa ku by’okukebera, ekya Uganda Police Forensic Laboratory.
Kino kitegeeza nti, ebinaava mu kukebera endagabutonde bw’abaana abo mu bifoeby’enjawulo ebyo, birina okuba nga bifaanagana. Bwe byawukana kijja kuba kitegeeza nti waliwo ekibulamu awo ate nawo wabeerewo okunoonyereza bwe kyazze. Bwe binaakwatagana
awo ng’abaana bonna bayitibwa nga babatyemula. Okusinziira ku Nende, kwabadde kusika muguwa kwa maanyi okukkirizisa embeera y’okukebeza abaana mu bitundu eby’enjawulo era byaggweredde mu banene.
Ensonda zigamba nti minisita wa Gavumenti z’ebitundu Balaam Barugahara eyaggusizza
eby’okuziikula Kafeero, yamaze kubaako mapeesa g’anyigako eyo mu ‘above,’ ‘agaatoye wooda’ abaana bakeberebwe mu bifo eby’enjawulo okukakasa nti tewabeerawo nsobi yonna
nga bwe kigambibwa mu zaasooka nga babakebera. Balaam yalabudde nti omwana yenna atagenda kujja kukeberebwa, agenda kutwalibwa ng’atazaalibwa Kafeero.
Wabula we bwazibidde eggulo ng’abaana bongedde okwewandiisa ewa ssenga waabwe Sarah Nantongo avunaanyizibwa ku by’okubakunga nga kati bagenda mu 30.
ENTAMBUZA Y’EBINTU EGENDA KUBEERA BW’ETI LEERO
Entambuza y’ebintu egenda kubeeta bw’eti leero; Leero ssaawa 3.00 abaana ba Kafeero n’abagambibwa nti babe, bagendakukung’aanira ku ggwanika lya City Mortuary e Mulago, batwalibwe e Wandegeya baggyibweko omusaayi, baveeyo batwalibwe n’e Naguru baggyiweko omusaayi omulala. Bwe banaamala okugubaggyako nga batandika okugugeraageranya n’amagumba ge baggye ku Kafeero mu kumuziikula okwakuliddwa Dr. Moses Byaruhanga akulira eby’obulamu mu poliisi.