OMUKYALA asobeddwa olwa bbulooka eyamufera n’amubbako ekyapa okutudde enju ye n'akizza mu mannya ge n'akyewolerako ssente mu bbanka.
Harriet Nakkazi Kinsambwe, 60, ow’e Kawuku ku lw’e Ntebe y'asobeddwa oluvannyuma lw'okukizuula nti bbulooka w'ettaka John Kasibante yamubbako ekyapa kya poloti okutudde amaka ge agali e Kikoma, Wobulenzi mu Luweero.
Nakkazi yategezeezza nti Kasibante okumusuula mu katego, yali yafunamu obuzibu mu byenfuna n'asalawo okutunda poloti eno. Mutabani we yamukubira essimu nti waliwo omukyala ayagala okugula poloti eno omuli ennyumba nti bw'aba asobola agende n'ekyapa kyayo, era naye kye yakola.
Yasangawo Kasibante n'amutegeeza nti alina omuguzi ye gw'ataalabako mu kiseera ekyo wabula n'amugamba asooke ateeke omukono ku mpapula ze yalina ssente anaazifuna wabula ye ky’atategeera nti yali assa mukono ku tulansifa ffoomu.
Bino byaliwo mu March wa 2016, Nakkazi agamba waayitawo emyezi etaano nga talaba kivaayo, Kasibante n'amugamba nga bwe yali yakyusa edda ekyapa kye n'akizza mu mannya ge n'akifunirako ssente mu bbanka nti era yaziwa Pulezidenti Museveni asobole okuzikubamu kampeyini z’akalulu akawedde.
Nakkazi yalowooza nti Kasibante asaaga kuba yali tasobola kukyusa kyapa kye nga tamuwadde lukusa kwe kugenda mu ofiisi z'ebyettaka e Bukalasa mu Luweero. Eno gye yazuulira nti ekyapa kyakyusibwa ne kidda mu mannya ga Kasibante kwe kutandika okumunoonya. Kyokka bwe yamukubiranga essimu ng’amutiisatiisa okuba nti muserikale era tagambwako.
Kasibante bwe yatuukiriddwa ku nsonga zino, yagambye nti azimanyiiko naye yeetaaga okwogera n’abaamawulire nga ne Nakkazi waali.