Amawulire

'Kkooti etuwadde obudde butono okwekenneenya obujulizi'

KKOOTI ewadde bannamateeka ba Dr. Besigye ennaku mukaaga okwekenneenya obujulizi bw'oludda oluwaabi ne batabuka. Baagala basooke gye bataputa Ssemateeka ku nsonga eno.

Dr. Besigye ne banne mu kaduukulu ka Kkooti Enkulu mu Kampala.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KKOOTI ewadde bannamateeka ba Dr. Besigye ennaku mukaaga okwekenneenya obujulizi bw'oludda oluwaabi ne batabuka. Baagala basooke gye bataputa Ssemateeka ku nsonga eno.
Omulamuzi Emmanuel Baguma owa Kkooti Enkulu okuyisa ekiragiro, kyaddiridde Erias Lukwago eyakulembeddemu bannamateeka ba Besigye, okusaba kkooti omwezi mulamba beekenneenye ebiwandiiko, sitetimenti n’okuwulira obutambi bw’amaloboozi n’ebifaananyi nga bali wamu n’abawawaabirwa olwo bakomewo mu kkooti okuwulira abajulizi ba Gavumenti.
Lukwago yategeezezza kkooti nti, beetaaga kompyuta ezikola obulungi batuule wamu n’abasibe bawulire n’okulaba obutambi bw’ebifaananyi obwabaweebwa nga ebizibiti ng’eno bwe beekenneenya ebiwandiiko by’oludda oluwaabi. Era yasabye kkooti eragire ab'amakomera babakkirize okutuula n’abasibe babawe n'obudde obumala beetegeke bulungi. Omulamuzi yalagidde omuwandiisi wa kkooti awandiikire abaamakomera bakkirize bannamateeka bagende mu kkomera ku wiikendi n'ennaku ezitali za kukola boogere n’abasibe baabwe. Kyokka ekyabawuniikirizza, yabawadde ennaku mukaaga ze baba bakozesa okwekenneenya obujulizi bakomewo wiiki ejja nga June 8, 2026 balabe bye banaaba bakkaanyizzaako ate nga June 11, 2026 oludda oluwaabi luleete abajulizi, omusango guwulirwe.
Fredrick Mpanga munnamateeka wa Besigye, yasabye omulamuzi ensonga eno bagitwale mu kkooti etaputa Ssemateeka ng’agamba obudde bw'abawadde tebubamala kuyita mu ntuumu ya mpapula, obutambi n'amaloboozi.
Bannamateeka abaabadde bakyalina bye babuuza, omulamuzi Baguma yabalese batangadde, embeekuulo n'ebuutikira kkooti era ku luno Hajji Lutale yalabiddwaako ng'alina ebigambo by'awereekereza omulamuzi