POLIISI eyongedde omuyiggo ku Ronnie Mulindwa eyali owa Obsessions, ne banne okuli Martin Male n’omuwala Zeysha, abagambibwa okukung’aanya abawala ne babayingiza mu bikolwa by’okwetundira ku mitimbagano gya yintanenti.
Kiddiridde ekikwekweto ekyakoleddwa poliisi mwe baanunulidde abawala 27, wiiki ewedde oluvannyuma lw’okutemezebwako nti beenyigira mu bikolwa by’obuseegu n’okwetunda. Abawala bano baasangiddwa mu nnyumba ekika kya ‘apartments’, Mulindwa ne banne ze baapangisa e Mbalwa mu munisipaali y’e Kira nga mwe babadde bakuumirwa nga bali wakati w’emyaka 16-26.
Kigambibwa nti, eno babadde bagifudde bizinensi era nga balina n’ennyumba endala mu bitundu nga Bulindo, Najjeera n’awalala gye bakuumira abawala ne babatendeka ebikolwa by’okwetundira ku mitimbagano.
Poliisi yawuniikiridde bwe yatuuse munda abawala bano we babadde beetundira, n'esangayo obusajja obukolerere, masiki ze bambala mu ffeesi, enjegere, kkamera ez’amaanyi n'ebitaala kwe zikolera ssaako kompyuta ze babadde bakwatirako bye baweereza bakasitoma baabwe, olwo ne babasasula omudidi.
Poliisi mu kukunya abawala be baasanze mu nnyumba baategeezezza nti bwe batandika emikolo, bakama baabwe babalagira okweyambula ne basigala buswa olwo ebitaala ebyaka ng’omusanane bibakubamu nga bwe babateze kkamera ne kompyuta, ezikwata ebiba bigenda mu maaso.
Poliisi ekizudde nti, bangi ku bawala bano, baggyibwa mu bitundu okuli; Mukono, Kampala, Lyantonde, Wakiso, Masaka ne Busoga.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Rachael Kawala, agamba nti, Mulindwa ne banne badduse oluvannyuma lw’okutegeera nti babaguddemu, wabula muganzi we, ayitibwa Vivian Kobera, y’omu ku baakwatiddwa era yattottoledde poliisi engeri gye bakolamu bizinensi eno.
Omu ku bawala abaakwatiddwa ayitibwa Tendo Nalubega, yagambye nti, kiba kizibu okubagwamu kuba buli omu abeegattako aggyibwako amannya ge amatuufu n’aweebwa amajweteke, si kulwa nga wabaawo abagwamu n’ategeeza ku ba ffamire zaabwe.
Yayongeddeko nti, bakama baabwe, okusinga bettanira bakasitoma Bazungu, era nga buli lwe batandika ‘emikolo egiba layivu ku mitimbagano (live streaming), tebakkiriza kasitoma ali mu Uganda, Kenya, Tanzania, ne Rwanda okulaba ebiba bigenda mu maaso okwewala okubagwamu.
Yagasseeko nti, bakasitoma baabwe babasasulira mu ddoola, nga buli ‘layivu’ okugyetabamu otandikira mu ddoola 100. Ku ssente ezikung’aanyizibwa, abawala bafunako omutemwa gwa bitundu 50 ku 100. Nti wabula bwe wabaawo bbulooka eyakutwala mu kifo kino, asasulwa ebitundu 15 ku 100, olwo omuwala n’asigaza ebitundu 35 ku 100.
Ng’oggyeeko okwenyigira mu bikolwa eby’obuseegu ku mitimbagano, abawala bano batendekebwa obukodyo bw’okusanyusa abagagga ku bubaga obuba butegekeddwa mu kyama (house parties) mu bitundu bya Kampala, Wakiso ne Mukono.
Era abamu batundibwa mu wooteeri ez’ebbeeyi okubeesabeesa abagagga ababa basuzeemu nga bakola nga ba ‘escorts’. Abamu ku bawala bano, bayizi ba yunivasite n’amatendekero aga waggulu. Abalala babaggya mu mabaala ate abamu babaggya mu byalo nga babasuubizza okubafunira emirimu.
Bwe batuusibwa mu ‘apartment’ gye babakuumira, babatendeka eby’obuseegu omuli n’ebisiyaga nga bwe babakwata ku butambi. Abawala abamu babakwataganya n’Abazungu ne babasuubiza okubatwala e Bulaaya bawone obwavu.
Omu ku bazadde yaguddewo ekigwo, bwe yasanze nga muwala we gw'aludde ng'anoonya yeggyako amannya ga Madiina Bamutaliza ne yeetuuma 'Leticia' era okumuzuula yamaze kufunvubira.
Obsessions kyali kibiina ky’abazinyi abaacaka ennyo mu myaka gya 1998- 2000 olw’amazina gaabwe agaacamulanga ennyo abadigize n’ennyambala y’okumansula. Muno mwalimu; Sharon O, Sheebah Karungi, Hellen Lukoma, Jackie Tusiime, Cleopatra Kyoheirwe ne Brenda Nambi