Amawulire

Ab'ebyobulamu bennyamidde olw'omuwendo gw'abantu abalina akawuka ka mukenenya mu Division ye Makindye

Okusasana kwakawuka ka mukenenya okweyongedde mu bitundu bye kansanga mu divizoni ye Makindye kweraliikiriza abakugu mu byobulamu okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago  

Abasawo nga bakola ku bantu
By: Julius Kafuluma, Journalist @New Vision

Okusasana kwakawuka ka mukenenya okweyongedde mu bitundu bye kansanga mu divizoni ye Makindye kweraliikiriza abakugu mu byobulamu okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Abakugu bino baabizuulidde mu lusiisira lwebyobulamu olwategekeddwa bannalotale aba kampala Nsambya olwabadde mu zone ya ssebuliba enkumi nenkumi zabantu gyebaakungaanidde okufuna obujanjabi obwobwerere obwaweereddwa bannalotale. Okusinziira ku bakugu bano ku bantu 10 bebaakebedde abantu babiri ku basatu baasangiddwa nga balina akawuka akaleeta mukenenya ate nga bonna baabadde tebamanyi bwebayimiridde.    

Abasawo abazze okukola ku bantu

Abasawo abazze okukola ku bantu


Abantu baakebereddwa endwadde ezenjawulo omwabadde akawuka ka mukenenya, omusujja gwensiri, sukaali, puleesa saako nokujanjabwa endwadde ezolukonvub.  
Abantu abasoba mu 500 bebaweereddwa obujanjabi wabula nga abaasinze obungi baabadde bakyala nabaana abato. Dr. Sulaiman Bwogere omukugu mu kujjanjaba endwadde ezenjawulo okuva mu ddwaliro ekkulu eryemulago yategezezza nti baafunye abantu bangi okusinziira ku bebaabadde basuubira wabula nga abasinga obungi baabadde nebifuba, endwadde zensusu nomusujja gwensiri.

Abantu nga bazze okufuna obujjanjabi

Abantu nga bazze okufuna obujjanjabi


Ekyasinze okujja abasawo enviiri ku mutwe gwemuwendo gwabaasangiddwa nakawuka akaleeta mukenenya okuba nga baabadde bangi naddala mu bakyala abafumbo. Wabula omukugu yategezezza nti bonna abaasangiddwamu akawuka baateereddwa ku ddagala eriweweza akawuka erya ARVs.
endwadde okuli omugongo ne puleesa nabyo byasangiddwa nga bigi mu bantu abaakebereddwa era nga zino nazo okufananako nakawuka ka mukenenya nazo zisinga mu bakyala. Omukugu yatugambye nti puleesa esinga ku kuva ku kukola nnyo nga kwogasse nokweraliikirira. Abakyala baategezezza nga ekyokukola ennyo bwebakiteeka ku basajja ababazaalamu abaana nebabalekera okubalabirira.  

Abantu nga bafuna obujjanjabi

Abantu nga bafuna obujjanjabi


Abantu era baasomeseddwa ne ku ndwadde ya Ebola naddala ensasana yobulwadde nobubonero kwolabira omulwadde wa Ebola.
President wa rotary clu ye Nsambya Donna Tusiime yatenderezza bannalotale bensambya olwomutima ogwobuyambi gwebaayolesezza mu kuwaayo okusobola okuyamba abantu be kansanga abali mu bwetaavu bwebyobulamu. Tusiima yategezezza nti luno lwabadde lusiirira lwakusatu olwebyobulamu omwaka guno nga baatandikira Buloba, Mpigi ne Nakasajja. Tusiime yasabye abazira kisa okuduukirira bannalotale mu kaweefube gwebaliko owokuyamba abanaku.