Amawulire

Abakosebwa ebikwekweto bya NEMA e Kawaala bawanjaze

ABATUUZE ba Kawaala Cell II mu munisipaali y’e Lubaga abakosebwa ebikwekweto by’ekitongole kya NEMA amayumba ne bizinensi zaabwe bwe byamenyebwa bawanjagidde abazirakisa okubadduukirira kuba bangi basula bweru mu mpewo ssaako okubulwa ekyokulya.

twaAbamu ku batuuze abaakosebwa ebikwekweto bya NEMA wiiki ewedde nga basobeddwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABATUUZE ba Kawaala Cell II mu munisipaali y’e Lubaga abakosebwa ebikwekweto by’ekitongole kya NEMA amayumba ne bizinensi zaabwe bwe byamenyebwa bawanjagidde abazirakisa okubadduukirira kuba bangi basula bweru mu mpewo ssaako okubulwa ekyokulya.
Bano nga bangi baalina amaka gaabwe okumpi n’oluguudo lwa Northern ByPass e Kawaala bali mu maziga olw’okusoberwa eky’okuzzaako nga basalawo okweyiiya na matundubaali mwe basula oluvannyuma lw’amayumba gaabwe okukoonebwa nga NEMA ebalumiriza okubeera nga baasenga mu lutobazzi lwa Lubigi ekintu ekyali kimenya amateeka.
Mu baakosebwa ebikwekweto bino mwe muli n’abafumbo abaliko obuzibu bw’okuwulira (bakiggala) nga bano babadde balina amaka gaabwe mu kitundu kino nga batudde ntende, wabula ku Lwokuna lwa wiiki ewedde ebikwekweto tebyabataliza era nga kati basula ku lubuubuuto lw’oluguudo wakati mu mbeera eyungula ezziga.
Abafumbo Kigozi Yahya ne mukyala we Namatovu Faridah ngabombi bakiggala baategeezezza nga ebikwekweto bya NEMA bwe byaboonoonera ebintu nga weetiiye zakoona ennyumba yaabwe ebifunfugu ne bigwiira Kigozi nga kati anyiga biwundu wakati mu mpewo y’okusula ebweru.
Bano bagamba nti, ekisinga okubaluma kwekuba nti, abakola ebikwekweto bino bajja n’agavubuka agabbi agaakoonanga ssaako okubba eby’omu nnyumba nga kati basula bweru ekiteeka obulamu bwabwe mu katyabaga k’okufuna endwadde ez’enjawulo naddala omusujja gw’ensiri.Saidat Nabyonga wakati mu maziga yategeezezza nga bwatamanyi kya kuzzaako wadde ky’anaaliisa abazzukulu be yasigaza oluvannyuma lw’ennyumba yaabwe okumenyebwa nga tebasigazza we bayinza kwebaka.
“Nsaba abazirakisa batuyambe kuba tetumanyi kyakuzzaako, ddala abazzukulu bano mbasuza mu mpewo era n’ekyokulya tetulina, twali twekolera nga tetusabiriza naye kati essuubi lisigadde mu bayinza kutudduukirira n’obuyambi byonna kuba tetumanyi kyakuzzaako”, Nabyonga bwe yannyonnyodde.Yagasseeko nti, embeera gye balimu ebafudde abagwiira mu nsi yaabwe nga buli kintu kye balina kyayonoonebwa kyokka nga balina ebiwandiiko ebikakasa nti, ekifo we babeera si lutobazzi kyokka kyabeewuunyisizza okulaba nga ennyumba zaabwe ne bizineesi zonna zoonoonebwa awatali kubawa mukisa kubaako kye bannyonnyola.
Ye Ali Bukenya ng’abadde n’ennyumba z’abapangisa mu kifo kino ategeezezza ng’ekintu ekyakoleddwa bwe kitali kya bwenkanya kuba ekitundu kya Kawaala Cell II si lutobazzi lwa Lubigi era nga n’ebiwandiiko omuli n’obusuulu bwe bazze basasula mu Buganda n’ebirala byonna babirina naye tewataliziddwa.
Bukenya eyagasseeko nti, tebayinza kuva mu kifo kino kuba bakirinako obwannannyini era nga si kitundu ku lutobazzi lwa Lubigi n’ategeeza nti, singa gavumenti yabadde eyagala okukozesa ekifo kino yandibadde ebasasula ssente ne bavaawo mu mirembe.
“Kirabika waliwo olukwe lw’okubba ebibanja byaffe, toyinza kugamba nti, World Bank yasasula abamu mu pulojekiti ya KIDIP nga bagaziya omwala ate mbu tuli mu lutobazzi lwa Lubigi? Ffe twaAbamugala bwenkanya kuba n’omusango gubadde gukyali mu kkooti olwo tugambe nti, NEMA eri waggulu w’amateeka?” Bukenya bwe yannyonnyodde.