MIDDLE EAST
AMERICA ne Iran bazzeemu okuwanyisiganya mizayiro, drone ne bbomu ekyongedde okukalubya enteeseganya z’okukomya olutalo ezigenda mu maaso. Kyayitiridde nga America ne Iran ziwanyisiganya bbomu, ne kitwaliramu n’amawanga amalala okuli Kuwait ne Bahrain awali enkambi z’amagye ga America, Iran ze yakozeeko obulumbaganyi.
Okusinziira ku mukutu gwa CNN, okulwana kwatandise oluvannyuma lwa America
okulengera emmeeri y’amafuta eyabaddeko bendera y’eggwanga lya Botswana eyitibwa M/T Lexie, nga yeesolossa okugenda ku kazinga ka Iran aka Kharg Island okugitikka amafuta, kyokka nga America yaggala obuzinga bwonna Iran kw’etundira amafuta gaayo, ng’egamba nti engeri Iran gye yaggala akagolomolo k’e Hormuz, nayo tejja kugikkiriza kutunda mafuta gaayo. Amagye ga America olwalabye ku mmeeri eno, ne bagiyimiriza n’egaana, kwe kugisindikira mizayiro America gye yatuuma ‘Omuliro gwa Geyeena’ (AGM-114 Hellfire) n’egisesebbula.
Wakati mu busungu, Iran nayo yasindise mizayiro n’esesebbula emmeeri eyitibwa Panaya, erina akakwate ku America nga yabaddeko bendera y’eggwanga lya Liberia.
America yayanukudde mu bwangu, n’ekuba ekitebe Mky’amagye ga Iran ekiri ku
kazinga Qeshm okuliraana akagolomolo k’e Hormuz, ng’eno yasesebbudde omulongooti gwa Iran kwebadde eyita okulondoola ebigenda mu maaso mu Kagolomolo.
Amagye ga Iran aga Islamic Revolutionary Guard Corps (IRGC) nago ne gaanukuza bukambwe ku mawanga ga Buwarabu agakolagana e America, okuli Kuwait ne Bahrain, America gy’esinziiraokukola ennumba ku Iran.Okusinziira ku mukutu gwa Tasnim News Agency ogufulumira mu Iran, amagye ga Iran gagambye nti gaakubye ekitebe ky’amagye ga America ag’omu bbanga era ennyonyi za America ennwaanyi we zisinziira, kw’ossa ekitebe ky’emmeeri za America ennwaanyi ekya US Fifth Fleet ekisangibwa mu disitulikiti y’e Manama mu ggwanga lya Bahrain.
E KUWAIT BAKUBYE EKISAAWE KY’ENNYONYI
Mizayiro za Iran era zaayingidde munda mu ggwanga lya Kuwait ne zikuba ekisaawe ky’ennyonyi ekya Kuwait InternantionalN Airport abantu
abaawezeeko ne balumizibwa bya nsusso, n’ebintu bingi ne byonooneka. Ekitongole ky’ennyonyi mu Kuwait ekya Kuwait General Civil Aviation Authority kyayimirizza
emirimu ku kisaawe kino, ne kiragiraN ennyonyi zonna ezaabadde zitegese okugwa ku kisaawe kinoN n’okusimbulako okuyimiriza, okutuusa nga bamaze okwekenneenya ebintu ebyayonooneddwa n’okutunuulira embeera.
Iran ng’eyita mu magye gaayo yagambye nti kino kye yakoze Bahrain ne Kuwait, libeere essomoN eri America n’Abawarabu abagibudamya nti singa ebintu byongera okusajjuka, Iran erina obusobozi obuteeka ensi yonna ku bunkenke.
IRAN EYONGEDDE OKULABULA
Minisita wa Iran ow’ensonga ez’ebweru, Abbas Araghchi, Iran olwamaze okukola obulumbaganyi ku Kuwait ne Bahrain, yakutte essimu n’akubira ku baminisita banne okuli ow’e Saudi Arabia, ne Qatar, n’abagamba nti Iran ebadde terina kyakukola, okuggyako okubonereza amawanga agasenza America n’esinziira eyo
okubakolako obulumbaganyi.
Amagye ga Iran nago gaafulumizza ekiwandiiko ku lunaku olw’okujjukira okufa kwa Ayatollah eyasooka Ruhollah Khomeini, ne gagamba nti buli munnansi wa Iran mwetegefu okufa nga akuuma omugendo ogwatandikibwa Khomeini, era America ne Yisirayiri bajja kuddayo ewaabwe nga Gavumenti ya Ayatollah tegudde nga bwe baali basuubira. Ekiwandiiko kyagambye nti ne bwe buliba ddi, America ne Yisirayiri balina okusasulira olw’okutta Ayatollah Ali Khamenei, n’abaana abato abatalina
musango 170, abaali basoma mu ssomero ly’abawala erisangibwa e Minab, America lye yakubako mizayiro ne lisaanawo.