Ku Mmande abakozi ba KCCA abaakulembeddwamu Michael Odok nga bayambibwako amagye ne poliisi baakedde mu Kawempe nga bagenda balabula abasuubuzi abakolera ku luguudo okulwamuka mbagirawo.
N’abasuubuzi abalina obudaala n’obuyumba bwe baakokeera ku maduuka nabo baalagiddwa okubumenyawo abalala ne babalagira okusemberayo emabega nga balina ku kikola mu nnaku biri.
Owa KCCA Ng'alaga Abasuubuzi Ku Kaleerwe We Balina Okukoma
Aboobuwooteeri abateeka amasigiri mu maaso we bafumbira balagiddwa okunoonya gye bagateeka, ate bo abasala enkoko omusaayi ne gukulukutira mu myaka nabo balagiddwa okukisalira amagezi.
Wabula abasirikale baawuniikiridde bwe baasanze Janat Nalweyiso omusuubuzi w'amenvu ne bamulagira mu nnaku biri abe ng’aggyeewo emmaali kyokka n’abaddamu nga bwe kitajja kusoboka kuba alina okusooka okutunda sitooko ye yonna agimalewo nga kijja kumutwalira ennaku 4 kuba talina waakuteeka bintu bye.
Nalweyiso Omusuubuzi W'amenvu Ku Kaleerwe Eyagaanye Okuvaawo Ku Luguudo Okutuusa Ng'ebintu Bye By'atunda Biweddewo
Onpo yeegattiddwaako abasuubuzi abalala abaategeezezza nti ennaku ebbiri ezibaweereddwa ntono bandibongeddemu .
Sulaiman Gidongo, ssentebe w’abasuubuzi ku Kaleerwe yagambye nti enkola ya 'Smart City' tebagirinaako buzibu kuba ezze kulung'amya nkola ya mirimu.