ABAANA basatu bafiiridde mu muliro ogukutte ennyumba mwe babadde basula e Kawempe mu Kampala ate abalala basatu ne baweebwa ebitanda nga bali mu mbeera mbi.
Bibadde mu zooni ya Kirokole Kawempe, omuliro bwe gukutte ennyumba ya Gerald Ssennyonga omuvuzi wa bodaboda era nga mu kiseera ekyo, babaddemu Mukaaga.
Kigambibwa nti mu nnyumba, baaleseemu essigiri okuli omuliro ate nga mulimu pikipiki, ekyanguyirizza omuliro okubuna mu nnyumba, abaana ne bafa.
Bonna abafudde, baana bawala ate Senyonga ne mukyalawe n'omwana omulala omu, ne baweebwa ebitanda mu ddwaaliro e Kirundu ng'embeera yaabwe mbi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti abazinyamooto we batuukidde ng'abaana bamaze okufa nga n'ebintu biweddewo.