Amawulire

Dr. Kulthum emikolo gy'okwanjula n'embaga gimuwuuba! Hajjat Mayanja amuyiyeemu obukadde 20 mu kaasi

Dr. Kulthum Nabunya Gumisiriza (PHD) atandise okuloza ku buzito bw’emikolo kati ssente z’emikolo azikung'aanyiriza mu kiveera kya 'Kampala annemye' abangi kye bakazaako erya 'Osofia in London'

Kulthumu ng'abalaabalamu ku musimbi gwe
By: Patrick Kibirango, Journalists @New Vision

Omanyi Kulthum ategeka kwanjula mulenzi we yinginiya Acram Gumisiriza nga 25th November 2022 ate embaga ebeerewo nga 18th December 2022.

Bukedde yamuguddeko e Wakaliga ewa Hajjati Mayanja ng’afubuttuka mu mmotoka ne yeesogga saluuni ya Biba.

Kulthum ng'akutte ekiveera ki omwabadde ssente takita

Kulthum ng'akutte ekiveera ki omwabadde ssente takita

Kalondoozi wa Bukedde gyamusanze ng’apakira ssente mu kiveera ki Osophia, era wano tutegeddeko nti Hajjati Mayanja yabadde amukwanze kavu wa bukadde 20 zimuyambe ku mikolo.

Ekyasinze okwewuunyisa kye kiveera Dr. Kulthum kye yaleese okupakiramu ssente era obwedda kino takitta wadde okuganya akisemberera.

Hajat Mayanja ng'akwanga Kulthum akavangata k'obukadde 20 bwe yeeyama

Hajat Mayanja ng'akwanga Kulthum akavangata k'obukadde 20 bwe yeeyama

Hajjati Mayanja yagambye yasanyuka nnyo okulaba omuwala omuto Kulthum ng’afunye omubeeza anaamunaazaako amaziga ga Muzaata ayamufaako kwe kusalawo amuwagire mu mikolo era obweyamu buno yali yabukola ku Akiika.

Ng’oggyeeko ssente ezamuwereddwa Kulthum era Mayanja yamuwadde n’omukisa gw’okukolebwako mu saluuni eno ku bwereere era yalabiddwaako ng’atudde ku byuma ebigenda okukozesebwa mu kumuyooyoota.

Kulthum ng'apakira omusimbi gwe mu kiveera

Kulthum ng'apakira omusimbi gwe mu kiveera

Kulthum yategeezeza Bukedde, nti kati emikolo atandise okugiwulira obuzito bwajo y’ensonga lwaki yasitukiddemu bwe baamuyise okunona ssente.

Yasekeredde abaali balowooza nti Acram asaaga, ne yeewaana nti ye yanaaba olweza olwanoga ate n'essaala asaba.