Amawulire

Abazigu abagambibwa okutigomya Mukono n’emmundu babuulidde poliisi ebyama

ABAVUBUKA  babiri abamu kw’abo abaakwatibwa nga kigambibwa nti balumba Bannamukono eb’enjawulo ne babanyagulula  ssaako n’okubalumya nga bakozesa emmundu wamu n’ebijambiya,  battute poliisi mu bifo eby’enjawulo gye babba .

Kalyango ng'annyonnyola poliisi engeri gye banyagululagamu abantu.
By: Eric Yiga, Journalists @New Vision

Bya Eric Yiga

ABAVUBUKA  babiri abamu kw’abo abaakwatibwa nga kigambibwa nti balumba Bannamukono eb’enjawulo ne babanyagulula  ssaako n’okubalumya nga bakozesa emmundu wamu n’ebijambiya,  battute poliisi mu bifo eby’enjawulo gye babba .

Bano kubaddeko; Ramathan Kirumira  28 ssaako ne John Kalyango 20  nga bonna bagoba ba boodabooda ku kyalo Kitete ekisangibwa mu kibuga Mukono era ng’eno gye babeera.

Bano baleeteddwa mu bukuumi obw'amaanyi nga basokedde ku kitebe kya poliisi e Mukono, oluvannyuma ne batwala poliisi ebifo eby’enjawulo  mu mmotoka ekikya kya Drone nga bakulembeddwa akulira eby’okunoonyereza ku poliisi eno, Musa Zziwa Kazibwe, ekitongole ekikuganya obujulizi ( Forensic)  wamu ne bambega abalala okuva e Mukono ne Kampala.

 

Kirumira  ng’ono kigambibwa yasangibwa n’emmundu ekika kya AK47  nga yalimu amasasi asatu  ng’eno yali egisabbisa ng'atambuliza mu kakutiya ka ssukaali aka kyenvu olwo n’agissa mu bbuutu y’emmotoka ye nnamba UAD 728Y.

Kigambibwa nti ono yakwatibwa n’ebisi ebirala okuli; ensawo bbiri ez’oku mugongo ng’emu esangiddwaamu ebijambiya  eziriko obwogi nnya ekyuma ekisala kufulu, ekisumuluzo kya ‘master key’ nga kino kibadde kya mmotoka, obuuma bwe bakozesa okusika ebintu mu mayumba,  saako n’ezitali nkozese, , ne Jumper bbiri ezigambibwa okukozesebwa nga bakola obunyazi, limoti za ttivvi bbiri ekika kya Hisense, omuzindaalo ogutalina wire,  yasoose okutwala poliisi mu bifo byonna gye baanyagululaga ne banne.

Kirumira yatutte poliisi mu bifo eby'enjawulo gye bakolera obutemu ne banne  nga baasookedde ku kyalo Kasagalabi  ng’eno baalumba amaka nga Immaculate Gitta agamanyiddwa nga White House  ng’eno babbayo essimu, ttivvi ssaako n’ensimbi .

Okusinziira ku Kirumira, mu kifo kino yaleetawo Ivan Sentamu , Kasolo, Isma Malusu ne Asuman  nga ye Kirumira yali akola nga ddereeva  mu mmotoka ye ekika kya  Toyota Corona  mu langi ya Grey nnamba UAD 728Y  era nga olwamala okubateekawo ye n'avaawo n’abeerako wabalindira.

“ Nze bwenatuusa bannange ne nvuga emmotoka ne mbeerako we balindira era wano baafuluma na ssimu ne ssente era nze wanno bampaako emitwalo 40 gokka, ebirala e nebabitwala,” bwatyo bw’ategeezezza poliisi.

Ono agenze mu maaso n'ategeezza nga mu kufuluma ennyumba eno, Ivan Sentamu yafuluma n’ensawo  era nga kasolo ye yatuulamu oluvannyuma lw’obuzigu.

Oluvanyuma abatutte ku bbaala ya Cloud 9 esangibwa mu  Ku Bbiri ng’eno kigambibwa gye batuula n’ebaluka olukwe lwonna olw’okunyaga.

Kirumira agamba nti eno yatwalayo  Masulu, Kafeero Peter, Paul , Asuman n’abalala nga  yali abaleese kunywa mwenge  era ng’oluvannyuma lw’okubatuusa bamusasula emitwalo ebiri mbu ye teyayingira mu bbaala eno.

Kinajjukirwa nti omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga  yategeezza nga bano okugenda okulumba supameketi ya Spice basinziira mu kifo kino era nga we baategekera obulubaganyi bwonna.

Oluvanyuma Kirumira atuute poliisi ky kyalo  Ham Mukasa ng’eno ye wasangibwa emmotoka eno mwali emmundu era n’abuulira poliisi nti emmundu eno yateekebwamu mukoddomi we Kanakudawa  Asuman, era nga yakitegeerako.

 

Ate ye John Kalyango naye atutte poliisi mu maka ng’omuvubuka omu ategeerekeseeko erya  Regean  ng’ono alina edduka ku kizimbe ekimu mu kibuga Mukono ku kyalo Kikuba Nkima ng’ono ategeezezza nga bwe bali bakozesa ekifo kino okuterekawo ebintu bye babeera babbye  ne munne ategeerekeseeko nga Deni , era yakakasa ng’omusango ogwamukwasa bwegwali ogw’obubbi bwe yagamba nti yali yaakabumalamu emyaka etaano.

Banno banokoddeyo abamu ku banabwe okuli Ivan Ssentamu, Isma Malusu, Kafeero Peter, Paul, Kanakudawa  Asuman, Kasolo ssaako n’omu ku bakola ogw’okuvuga Special mu ppaaka ya takisi e Mukono ng’ono naye akozesa emmotoka ekika kya Wish.

Bano oluvannyuma baddiziddwaayo e  Kampala era nga be bamu ku bantu abazze bakwatibwa okuli William Mugalu ne Sam Mbogo.

Okusinziira kw’amyuka RDC w'e Mukono, Henry Kitambula abantu 14 be baakakwatibwa mu nsonga eno.

 

 

Tags:
abatigomya
Mukono