Amawulire

Ab’e Nabweru baloopedde poliisi ‘abaana’ baabwe ababatigomya

ABATUUZE ba Nabweru South mu munisipaali y’e Nansana baloopedde abeebyokwerinda obubinja bw’abavubuka ababateega ne babakuba n’okubanyaga ekiviiriddeko bangi okwagala okudduka ku kitundu.

Abatuuze nga baloopera abeebyokwerinda ebibanyigiriza.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABATUUZE ba Nabweru South mu munisipaali y’e Nansana baloopedde abeebyokwerinda obubinja bw’abavubuka ababateega ne babakuba n’okubanyaga ekiviiriddeko bangi okwagala okudduka ku kitundu.
Bano baasinzidde mu lukiiko lw’ebyokwerinda ne bategeeza nga bwe basula ku tebuukye olw’abavubuka abaafuuka bannantagambwako okuli; ‘Solid Gang, Paradise, Meeting Point n’obulala nga businga kwegiriisa mu bitundu nga; Kafunda, Nabweru, Kabira n’okudda ku Lubigi nga bateega abatuuze n’emisana ttuku ne babakuba n’okubanyagulula.
Abatuuze bagamba nti, ekisinga okubaluma kwe kuba nti ababatigomya baana ba ku kitundu kyokka buli lwe beekubira enduulu, nga bazadde b’abaana bano babawalana n’okutegeeza nga bwe bawaayiriza abaana baabwe.
Dorothy Nankya, ssentebe wa Nabweru South eyabadde omukaawu yategeezezza nti, tagenda kutunula ng’abantu ab’olubatu batulugunya abatuuze n’agamba nti, baakwongera okunnyikiza ebikwekweto n’abeebyokwerinda bamalewo obubinja bunoNankya yagasseeko nti, bangi bakola effujjo kyokka buli lwe bakwatibwa nga bazadde baabwe bawoza nti ezo mpalana za byabufuzi n’agamba nti kye kiseera ebyobufuzi biggwe baweereze abatuuze.
“Siri mukwano gwo nga weenyigira mu bumenyi bw’amateeka ne bw’oba osula wange.
Abazadde abawoza nti bawaayiriza abaana bammwe, bwe mutaababuulirire okuleka ebikolwa ebicaamu, baakuggweera mu makomera kuba abatuuze bakooye,” Nankya bwe yannyonnyodde.
Abatuuze beemulugunyizza ku bibaluma omuli ebbaala ezisula ziwoggana ng’omuntu ne bw’afuna obuzibu n’akuba enduulu kizibu okudduukirirwa, ebisolo ebitaayaaya n’ebirala ne basaba abakulembeze okufaayo.
DPC wa Nansana, SP Anthony Nsadha wano we yasinzidde n’awera okufufuggaza obubinja bwonna obumeruseewo n’ategeeza ng’ebikwekweto bwe bigenda okunyinyittira awatali kuttira muntu yenna ku liiso.
Yagasseeko nti, abazadde abazibiikiriza abaana baabwe abamenyib’amateeka, nabo baakukangavvulwa.
Abeebyokwerinda era baalabudde abatuuze okuggala bulungi enzigi zaabwe, okubeera n’enkola ya mayumbakkumi n’okuzzaawo enkolaga ne baliraanwa baabwe kibayambe okuba n’ebyokwerinda ebitandikirwako.
Wano GISO wa divizoni y’e Nansana, Faluk Mutendwa we yasabidde abatuuze okutambula n’ebiboogerako omuli kaadi z’ekyalo, kibayamba nga bakoze ebikwekweto okusunsulamu abateeberezebwa okwenyigira mubumenyi bw’amateeka.
Mutendwa era yajjukizza balandiroodi okwanjula abapangisa baabwe eri obukiiko bw’ebyalo kuba abapangisa abamu badduka mu bitundu gye bava nga bazzizza emisango era ng’abantu be bamu abadda mu kutigomya ebitundu gye babeera basenze