GAVUMENTI ebazze etteeka mw’etadde ebibonerezo ku bannabyabyufuzi abaggya ssente mu mawanga g’ebweru mu nkukutu okutabangula ebyenfuna n’ebyobufuzi bya Uganda.
Ebbago lino eriyitibwa “Protection of Sovereignty Bill, 2026”, lireeteddwa okukugira ssente eziva ebweru . Bukedde afunye ebbago era bino bye bikulu ebiririmu :
lEtteeka liruubirira okukuuma obwetwaze bwa Uganda, ssente eviza ebweru a zireme kukosa byanfuna n’okutabangula eby’obufuzi.
lAbantu abafuna ssente n’obukwakkulizo obuziriko balina okusooka okwewandiisa mu kitongole ekigenda okuteekebwao Gavumenti bafune ebbaluwa mu minisita avunanyizibwa ku nsonga z’omunda.
lSinga okwatibwa nga tolina lukusa osasula engassi ya kawumbi kamu, okusibwa emyaka egitasukka 10 oba byombi.
lOmuntu ssekinoomu n’ekitongole ne bweweebwa olukusa, minisita alina obuyinza obulusazaamu ekiseera singa akizuula nga ku ntandikwa mwalimu amawulire amakyamu.
lEkitongole ky’obwanakyewa kirina okulaga gye bajja ssente, obungi bwazo n’ekigendererwa kyazo. Singa obungi bwa ssente eziyingira busukka ku mutemwa ogwogerwako, olina kusooka okufuna olukusa okuva ewa minisita w’ensonga z’omunda.
lMinisita alina obuyinza okusindika omuntu yenna ne yeekenenya enzirukanya y’emirimu gy’ekitongole kyonna. Singa omuntu ayo alemesebwa okufuna amawulire ge yetaaga gubeera musango oguliko engassi ya bukadde 40, okusibwa emyaka egitasukka musanvu oba okuweebwa ebibonerezo byombi.
lOmuntu ssekinoomu oba ekitongole ky’obwanakyewa tekirina buyinza bufuna ssente zisukka bukadde 400 mu mwaka. Okufuna ezisingawo babeera balina okufuna olukusa.
lAnaakwatibwa ng’akolagana n’abagwira okusekeeterera Uganda ng’okweyingiza mu kulonda, osasula obuwumbi buna oba okusibwa ebbanga eriweza emyaka 20.
KYE BOOGERA KU TTEEKA
Omuwi w’amagezi g’ekikugu eri omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga , Dorothy Nsereko yayanjudde ssente ze betaaga okuteekesa etteeka lino mu nkola bwe yabadde mu kakiiko ka Palamenti akakola ku nsonga z’ebyokwerinda.
Yagambye nti etteeka lyogera ku bantu abatuukirwako ssente empitirivu okuva ebweru w’eggwanga n’agamba nti ligenda kuyamba okunyweza ebyokwerinda by’eggwanga.
Ennyingo esooka mu ssemateeka, Bannayuganda baddembe ku nkola z’embeera z’abantu, ez’ebyenfuna, n’okukubaganya ebirowoozo ku mateeka.
Akulira ekibiina k’obwanakyewa ekya Centre for Constitutional Governance, Dr. Sarah Bireete yagambye nti obwetwaze bukuumibwa, okukuuma eddembe ly’obuntu.
James Katamba, omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu agamba etteeka lireeteddwa kulwanyisa bannabyabufuzi b’oludda oluvuganya. Yawadde ekyokulabirako kya Kyagulanyi ali mu America ng’asisinkana abantu n’ebitongole ssekinoomu ng’abisaba okusala ku buyambi bwe bawa Uganda.
Mu kiseera ky’ekimu Kyagulanyi aliko ebivvulu byategese mu America e Los Angels, America, Boston, nga byonna birimu okusonda ssente. Etteeka lino singa liyita gyonna bagenda kugimuteekako ng’emisango avunaanibwe.
Yusuf Nsibambi (Mawokota South) eyaakakyuka okuva mu FDC ne yeegatta ku NRM yawagidde etteeka nti ligenda kuyamba nnyo okunyweza obwetwaze bw’eggwanga n’okulitebenkeza