Amawulire

Ebizuuliddwa ku yasaliddwa obulago e Nansana

EBIZUULIDDWA ku muvubuka eyasaliddwa obulago e Nansana bitiisizza abaserikale ba poliisi ku ngeri abamenyi b’amateeka gye beeyongedde okubeera ab’omutawaana.Ebyakazuulwa bambega ba poliisi biraga nti Erias Kabanda 27, abadde yakazibwako erya Ochi, eyattiddwa abadde mu kabinja ka Kasolo Group akabadde kakulemberwa Peter Bakka abadde yakazibwako DPC Kasolo eyakubiddwa amasasi ku Lwomukaaga e Nansana ku Masitoowa

Abapoliisi nga bateeka omulambo gwa Kabanda ku kabangali. Mu katono bw’abadde afaanana.
By: Kiragga Steven, Journalists @New Vision

EBIZUULIDDWA ku muvubuka eyasaliddwa obulago e Nansana bitiisizza abaserikale ba poliisi ku ngeri abamenyi b’amateeka gye beeyongedde okubeera ab’omutawaana.
Ebyakazuulwa bambega ba poliisi biraga nti Erias Kabanda 27, abadde yakazibwako erya Ochi, eyattiddwa abadde mu kabinja ka Kasolo Group akabadde kakulemberwa Peter Bakka abadde yakazibwako DPC Kasolo eyakubiddwa amasasi ku Lwomukaaga e Nansana ku Masitoowa.
Kabanda baamuttidde Kabumbi mu Nansana era omulambo gwe gwasangiddwa okumpi ne kasasiro nga gugang’alamye mu kitaba ky’omusaayi.
Ebizuuliddwa biraga nti, Kabanda yabadde amanyiganye bulungi ne Kasolo era we battidde Kasolo, yabadde yaakamala okwogerezeganya ne Kabanda. Kiteeberezebwa nti, abeebyokwerinda abasse Kasolo, beeyambisizza Kabanda okumuggya gye yabadde n’amuteeka mu ttageti z’abeebyokwerinda ne bamuggyawo.
Ensonda mu poliisi e Nansana zaategeezezza nti mu ngeri y’okwesasuza, banne ba Kasolo bwe baakitegedde nti Kabanda ye ‘yapimye’ munnaabwe okutuuka okuttibwa nabo ne bamulumba.
Bakka ye yatandika akabinja ka Kasolo Group. Kaasooka kweyita Kasolo boys oluvannyuma ne keeyubula. Akabinja kaali kabbira mu kye baali baakazaako ‘eggaali’ ng’abavubuka basiba akajegere ne batambula nga babba buli gwe basanze mu kkubo kyokka oluvannyuma Bakka bwe yakizuula nti be babba baba tebalina ssente, kwe kuzimba ekibinja ekirala mu ba Kasolo Group n’akitendeka obukodyo obw’omutawaana omuli n’okuvuga pikipiki za ‘get away’ ezibaddusa nga bamaze okubba ne batandika okuteega abantu abava mu bbanka, Mobile Money n’abasuubuzi abatambuza ssente
ennyingi.
Banne abasinga babadde baakwatibwa ne baggalirwa ku musango gw’okubba omulamuzi Gladys Kamasanyu mu June wa 2021. Ne Bakka, yabadde mu kkomera gye yali yaggalirwa olw’obubbi. Banne babadde baamukazaako DPC Kasolo olw’obukugu n’obukodyo bw’abadde akozesa mu misoni ze n’okuba nga y’abadde omukulembeze waabwe. DPC mu poliisi kitegeeza ‘Division Police Commander’. ENGERI GYE BASSE KABANDA;
Abatuuze abaakedde okugenda ku mirimu be baalabye omuntu eyabadde yeebase mku kasasiro era bwe baamusemberedde ne bakizuula nti yabadde yattiddwa.
Bano baayise poliisi eyatuuse okuggyawo omulambo ne bakizuula nti ye musajja gwe babadde baludde nga bayigga ku misango gy’okubbisa eryanyi mu bitundu bya Nansana, Kawempe, Namungoona, Northern Bypass n’awalala. Ku kiso ekyamusaliddwa obulago, abaamusse baagasseeko okumukuba ejjinja ku mutwe era we baasanze omulambo nalyo lyasangiddwaawo nga lijjudde omusaayi.
Abatuuze bagamba nti omugenzi babadde batera okumulaba ku kitundu kyabwe era ng’ayogerwako ng’abadde omubbi nga y’omu ku bavubuka abaludde nga bakuba abantu ssaako okubanyagulula.
Omugenzi yasangiddwa n’essimu ssatu era obwedda zivuga nga zino poliisi yazitutte okwongera okunoonyereeza ku kituufu ekiri emabega w’ettemu lino.
Ian Ssekandi, kkansala akiikirira Kabumbi ku munisipaali e Nansana yagambye nti okusinziira ku bwe baasanze omulambo, Kabanda yasoose kulwanagana n’abaamusse
era we baamusanze waabaddewo ensiitaano ey’amaanyi. Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, LukeOwoyesigy- ire yagambye nti bakyanoonyereza kyokka bye baakazuula biraga nti yandiba nga yafunye obutakkaanya ne banne ne bamutta