Amawulire

Maama atabuse ne mutabani we lwa ttaka n'abotola ebyama ; 'nakuzaala mu mupakasi wa waka!!!!!!!!'

MUKAAMWANA ayambalidde nnyazaala we ow’emyaka 89 n’amuvuma nga bw’amulangira obubbi, obulogo n’obwenzi bw’abadde (nnyazaala) alwanirira ekibanja kye kyemukaamwana oyo ne bba mutabani we kye bamunyagako.

Maama atabuse ne mutabani we lwa ttaka n'abotola ebyama ; 'nakuzaala mu mupakasi wa waka!!!!!!!!'
By: Saul Wokulira, Journalists @New Vision

Omukadde ayatulidde mutabani we nga bwe yamuzaalira mu bwenzi era nga kitaabwe omutuufu yali mupakasi w’awaka.!

Omukadde Sinyaku ne mutabani we Yuwa n'abalala ku kibanja.

Omukadde Sinyaku ne mutabani we Yuwa n'abalala ku kibanja.

Omukadde Elizabeth Sinyaku 89, omutuuze ku kyalo Buyungirizi mu ggombolola y’e Kayunga mu disitulikiti y’e Kayunga y’avumiddwa Penninah Namaja ono nga ye muka mutabani we gwe yeezaalira Jackson Yuwa.

Bino okubaawo, omukadde Sinyaku abadde atutte bannamateeka ate abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu aba Christian Lawyers’ Fraternity nga bali wamu n’avunaanyizibwa ku kusitula embeera za bantu e Kayunga n’okulondoola eby’abafu Collins Kafeero okubalaga ekibanja mutabani we Yuwa ky’agamba kye yamunyagako.

Omukadde Sinyaku, Bannamateeka ne mutabani we Yuwa babadde bakyalambika ensalosalo ne zireeta mukaamwana Namaja n’ayambalira omukadde oluyombo.

Mukaamwana Namaja.

Mukaamwana Namaja.

Omukadde ajjukiza mutabani we nga bwe yamuzaala mu mupakasi w’awaka era yamutwala ne mu kika kye ekyo n’afunayo omugabo nti wabula alemedde mu mmaali y’ekika mw’ataazaalibwa.

Omukadde ekitundu ekyali kiweereddwa mutabani we yakimuggyeeko wabula mutabani n’akontola omukadde nti emyaka giweddeko era mbu anaatera okufa ekitundu akyeddize.

Wadde bino byonna byabaddewo, Bannamateeka okuli Joel Wangu owa Uganda Christian Lawyers’ Fraternity bagenze mu maaso n’okusimba empaanyi okwawula ekibanja ky’omukadde era Wangu agambye nti ebyabatutteyo bikoleddwako.

Kafeero nga alambuka Yuwa ne maama we Sinyaku ku kibanja ekikaayanirwa.

Kafeero nga alambuka Yuwa ne maama we Sinyaku ku kibanja ekikaayanirwa.

Ssentebe Yuwa agamba nti nnyina ekimutuusa awo ayagala kugabira batabani abalala ekibanja ky’amuggyeeko. Collins Kafeero awabudde nti omukadde bw’agamba nti Yuwa yamuzaala mu kika kirala, bateekeddwa kusooka kumukebera ndagabutonde.

 

Kafeero yagambye nti tebasuubira mukadde ne mutabani we ate kuddamu kuneneng’ana kubanga ensonga ziwedde era abasabye bakuume emirembe. 

 

Tags:
Amawulire
Mukaamwana
Nnyazaala
Maama