Bya Wilson Ssemmanda
1. Dr. Apollo Milton Obote
Bungereza bwe yali ewa Uganda Obwetwaze mu 1962, Uganda yalonda Milton Obote nga Katikkiro wa Uganda.Ono yalina Obuyinza obwa waggulu ng’Obwa Pulezidenti ng’afuga ne Pulezidenti Edward Muteesa II eyali ow’emikolo.

Dr. Milton Obote
Mu 1966, waaliwo obutakkaanya n’okulwanira obuyinza wakati wa Obote ne Kabaka Muteesa -eyali Kabaka wa Baganda mu kiseera kye kimu. Akakuubagano kaabwe kaavaako okukyusa Ssemateeka wa Uganda Abangereza gwe baalekawo nga bawa Uganda Obwetwaze mu 1962.
Mu Ssemateeka Obote gwe yateekawo mu 1967, yaggyawo ebifo bya Pulezidenti ow’emikolo n’omumyuka wa Pulezidenti olwo n’afuula Uganda eggwanga erya lipabuliiki era n’awera n’Obwakabaka bwonna mu Uganda. Ekyaddirira Obote yeerangirira okubeera Pulezidenti wa Uganda eyalina obuyinza bwonna nga takubiddwaako kalulu.
2. Otema Allimadi
Otema Allimadi yazaalibwa Kitgum mu Bukiikakkono bwa Uganda mu 1929 n’afa mu 2001. Yaweerezaako nga Minisita wa Uganda ow’ensonga ez’ebweru okuva mu 1979 - 1980 nga yali asoose kuweereza ng’Omubaka wa Uganda wakati wa 1964 - 1971.
Ono ye Katikkiro wa Uganda owookubiri era eyasooka okulondebwa oluvannyuma lw’okuggyawo ekifo ky’Obwakatikkiro.
Mu bbanga lyonna nga Obote lye yafugira okutuuka mu 1971 ne Idi Amin we yafugira okutuuka mu 1979 tewaaliwo kifo kya Katikkiro wa Uganda.
Ekifo kino kyakomezebwawo Obote ng’akomyewo okufuga Uganda omulundi ogwokubiri bwe yalondebwa mu kalulu ka bonna aka 1980.
Otema yaweereza mu kifo kino okuva mu 1980 okutuuka mu 1985.
3. Paulo Muwanga
Paulo Muwanga yali mmemba wa kibiina kya Ugandan's People Congress (UPC). Mu 1980, Muwanga ye yali akulira akakiiko k’ebyokulonda era yaweerezaako nga Pulezidenti ow’ekiseera okuva mu May, 12, 1980 – May, 22, 1980 akakiiko ka Presidential Commission of Uganda lwe kaalondebwa. Oluvannyum alw’akalulu Muwanga ke yalondesa, Obote ke yawangulira waggulu, Muwanga naye yalondebwa ku bwa Katikkiro wa Uganda mu 1985.
4. Abraham Waligo
Waligo ye yali Katikkiro wa Uganda owookuna nga yaweereza mu kifo kino okuva nga August 25, 1985 okutuusa nga January 26, 1986. Yazaalibwa nga July 28, 1928 n’afa nga March 6, 2000.

Omugenzi Dr. Samson Kisekka.
5. Samson Kisekka
Olwalya ekifo ky’Obwapulezidenti wa Uganda, Yoweri Museveni yalonderawo Dr. Samson Kisekka okubeera Katikkiro wa Uganda. Ekifo kino yakiweererzaamu okumala emyaka etaano oluvannyuma Museveni n’amulonda okubeera omumyuka wa Pulezidenti nga January 22, 1991. Ono oluvannyuma yaweereza ng' omuwabuzi wa Pulezidenti ow’enjawulo mu kiseera ng’awummudde emirimu egy’amaanyi mu 1994.
Yafa nga October 25, 1999 mu ddwaaliro erimu mu kibuga kya Bungereza ekikulu, London bwe yali agenze okumulongoosa omutima.

George Cosmas Adyebo
6. George Cosmas Adyebo
George Cosmas Adyebo yali munnabyabufuzi era munnabyanfuna eyaweerezaako nga Katikkiro wa Uganda okuva mu 1991 - 1994. Adyebo yalondebwa mu kifo kino nga January 22, 1991, ng’adda mu bigere bya Samson Kisekka eyali afuuse omumyuka wa Pulezidenti. Adyebo ekifo kino yakimalamu emyaka egikunukkiriza ena (4) okutuusa nga November 18, 1994. Yafa nga November 19, 2000 mu ddwaaliro lya Kampala International Hospital oluvannyuma lw’okumala ebbanga ng’alwanagana n’ekirwadde kya kookolo.

Kintu Musoke
7. Kintu Musoke
Kintu Musoke yaweereza nga Katikkiro wa Uganda okuva nga November 18, 1994 okutuusa nga April 5, 1999. Oluvannyuma yalondebwa ng’akulira akakiiko akalwanyisa siriimu mu Uganda aka task force on fighting AIDS in Uganda. Okutuusa leero akyali muwi w’amagezi eri Pulezidenti Museveni.

Omugenzi Apolo Nsibambi
8. Apolo Nsibambi
Polofeesa Apolo Robin Nsibambi yalondebwa ku Bwakatikkiro wa Uganda nga April 5, 1999 okutuuka nga May 24, 2011 . Nsibambi Yaliko mu bifo eby’enjawulo mu Makerere University okuli n’ekya Dayirekita wa Makerere Institute of Social Research okuva mu 1994 okutuuka mu 1996.
Wakati wa 1996 okutuuka mu 1998, yaweereza nga Minisita w’abakozi ba Gavumenti. Mu 1998 yalondebwa n’aweereza nga Minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo okutuusa mu 1999 lwe yalondebwa ku kya Katikkiro wa Uganda. Nsibambi era yaweerezaako nga Cansala wa Makerere University okuva mu 2003 okutuuka mu October wa 2007. Yafa nga May 28, 2019.
9. Amama Mbabazi
Mbabazi yaweereza mu bifo eby’enjawulo omuli ekya Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda n’eka Minisita omubeezi ow’enkolagana ya Uganda n’amawanga ga East Africa. Yalondebwa ku kya Katikkiro wa Uganda mu May 2011 kyokka oluvannyuma yafuna obutakkaanya ne mukama we - Museveni eyamusuula n’amusikiza Ruhakana Rugunda nga September 18, 2014.

Dr. Ruhakana Rugunda
10. Ruhakana Rugunda
Rugunda yazaalibwa Kabale mu 1947. Mmemba wa kibiina kya NRM era musawo omutendeke mu by’okulongoosa, okutabula eddagala era alina diguli eyookubiri mu byobulamu eby’olukale eya Masters of Science in public health.
Rugunda alondeddwa mu bifo ebiwera omuli ekya Minisita w’ebyenguudo n’emirimu, Minisita w'ebyobulamu, Minisita w’amawulire, Minisita w’ensonga ez’ebweru, Minisita w’ensonga z’Obwapulezidenti era yaliko Minisita w’ensonga ez’omunda. Ku Bwakatikkiro yalondebwa mu 2014 n’aweereza mu kifo ekya okutuusa mu 2021.
11. Robinah Nabbanja
Nabbanja ye mukazi eyasooka okufuuka Katikkiro wa Uganda. Nabbanja yalondebwa Museveni nga June, 8 2021 oluvannyuma Palamenti n’emukakasa mu kifo kino nga June 21, 2021 ng’adda mu bigere bya Dr Ruhakana Rugunda. Mu kiseera kye kimu Nabbanja ye mubaka omukazi owa Disitulikiti y’e Kakumiro mu Palamenti ay’ekkumineemu ng’ekifo kino akibaddemu okuva mu 2016 era munnakibiina kya NRM.