ABATUUZE b’e Kisaasi baguddemu ekikangabwa omwana wa mutuuze munnaabwe abadde agenze okusena amazzi ku luzzi ekikomera bwe kimugwiiridde n’afiirawo.
Bino byabadde mu Kikulu Zzooni mu Kikaaya mu munisipaali y’e Kawempe, oluvannyuma lwa nnamutikkwa w’enkuba eyatonnye.
Enkuba bwe yakedde abatuuze abaabadde bagenze ku luzzi beekanze omwana ow’emyaka 12 ng’ekikomera kimugwiiridde. Oluzzi luliraanye ekikomera ekyamusse.
Omwana ono abatuuze tebaasoose kumutegeera olwa bbulooka ezaabadde zimubisse kyokka bwe baazimuggyeeko ate nga ne kitaawe Adrian Ndiwa yabadde atandise okumunoonya, ne bazuula nga mwana wa mutuuze munnaabwe ye yafudde.
Bagamba nti enkuba bwe yabadde egenda okutandika okutonnya, baamugaanye okugenda ku luzzi kyokka tebaategedde we yayise beekanze okumusanga ng’ekikomera kimukubye afudde.
Ndiwa yategeezezza nti eyafudde ye muwala we Pavin Kusaasira 12, abadde asoma P5, ku ssomero lya Santamaria e Bukoto.
Yategeezezza nti bato ba Kusaasira be yabadde agenda nabo ku luzzi enkuba yabalemesezza ne basigala awaka.
Ismail Bukenya, ssentebe wa Kikulu yategeezezza nti amawulire ga mutuuze we okufiirwa omwana gaamusanze waka kwe kutemya ku poliisi ya Kira Road eyazze n’eggyawo omulambo n’egutwala e Mulago okwongera okugwekebejja.
Ensonda ku kyalo zaategeezezza nga nnyini maka okuli ekikomera ekyakubye omugenzi bw’abeera e mitala w’amayanja