Amawulire

Poliisi y'e Kalangala bagitonedde ttivvi gaggadde abaserikale ne beebaza

OMUBAKA omukyala owa disitulikiti y’e Kalangala mu Palamenti, Hellen Nakimuli atonedde poliisi w’e Kalangala ttivvi ebasobozese okumanya ebifa mu nsi.

Poliisi y'e Kalangala bagitonedde ttivvi gaggadde abaserikale ne beebaza
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

Eno eyungiddwako emikutu gya digito era Nakimuli yagibakwasirizza ku kitebe kya poliisi ekisangibwa mu kibuga ky’e Kalangala ku Lwokusatu October 12,2022 n'agamba nti poliisi yetaaga okuwagirwa ekimala n'ebintu ebigisobozesa okutuukiriza obuvunanyizibwa bwaayo.

Omubaka Nakimuli ng'akwasa abaserikale ku poliisi y'e Kalangala enkulu, ttivvi.

Omubaka Nakimuli ng'akwasa abaserikale ku poliisi y'e Kalangala enkulu, ttivvi.

Tom Mugisha, aduumira poliisi y’e Kalangala yeebazizza omubaka Nakimuli olw'obuyambi buno era ttivvi eno bagenda kugiteeka awatuukirwa abantu, buli omu asobole okulaba ebigenda mu maaso. Asabye omubaka ayongere okubasakira ebintu ebirala. 

Olwavudde ku poliisi, Munna NUP ono Nakimuli yagenze ku kitebe ky'amakomera e Kalangala gye yayaniriziddwa James Walakira  akikulembera, n'abakwasa essefuliya ennene bbiri omufumbirwa emmere.

"Ebitongole bino ebikuumaddembe bikulu nnyo mu bitundu era bwe tuba tufunye omukisa gw'okubiwereezaako, tukikola nabyo bisobole okutuweereza obulungi," Nakimuli bwe yagambye.

Tags:
Amawulire