Amir Kamoga atadde amateeka amakakali ku Batabbuliiki

Oct 22, 2022

AKULIRA Abatabbuliiki mu ggwanga Amir Ummah Sheikh Muhamad Yunusu Kamoga ayisizza amateeka amakakali agalina okugoberera ba Imaam ne Bamasheikh mu ggwanga.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

AKULIRA Abatabbuliiki mu ggwanga Amir Ummah Sheikh Muhamad Yunusu Kamoga ayisizza amateeka amakakali agalina okugoberera ba Imaam ne Bamasheikh mu ggwanga.
Kino kikoleddwa okutereeza ekifaananyi ky’abakulembeze ababadde beeyisa mu ngeri etasaanidde n’okutereeza ekifaananyi kyabwe eri Abasiraamu abalala ne Bannayuganda bonna.
Abapangisa endongo ku mikolo, abaabya ennyimbe, abasigula abakazi abafumbo, n'abalyazamaanyi bubakeeredde.
Sheikh Kamoga yagambye nti enneeyisa y’Abatabbuliiki abamu ebadde ebulamu era nga kibaviirako okubavumaganya. Okubalondoola kyakubayamba okwekubamu ttooci, okutereeza abawabye n’okweggyako abanaasangibwa nga baaviira ddala ku mulamwa.
Yagambye nti kibadde kiswaza okusanga Bamasheikh nga basomesa ku bintu bye bimu, kyokka nga buli omu abitaputa bubwe. Kino kuvuddeko abagoberezi bangi okusigala nga batabuddwa ne babulako kye batwala.
Yalangiridde obukiiko obugenda okulondoola enneeyisa okuli ak’amateeka, aka Fatuwa n’akavunaanyizibwa okubunyisa eddiini.
Siraje Kifampa omwogezi wa Batabbuliiki abeegattira mu kibiina kya Jumuiyyat Da’wa Assalafiya yagambye nti, akakiiko k’amateeka kaakulondoola abakulembeze abeenyigira mu mize gy’okuvuma abantu, abagenda ku mikolo egikontana n’enzikiriza y’eddiini n’abakozesa obubi ofiisi ezibakwasiddwa, abasigula baka banaabwe n’emisango emirala.
Akakiiko kano kakulirwa Sheikh Twawil Abdallah Baligeya n’amyukibwa Sheikh Salim Bbosa. Balagiddwa okuwulira enjuyi zonna n’obwenkanya. Singa Sheikh akkiriza ensobi ne yeetonda ajja kusonyiyibwanga bwe gunaaba omulundi ogusoose. Kyokka bwe kinaafuuka akagenderere bajja kumugobanga.
Wateereddwaawo n’akakiiko ka Fatuwa akatuulako Bamasheikh abamanyi abagenda okuluhhamyanga ku bintu ebirimu okukubagana empawa mu njigiriza.
Kifampa yagambye nti wabaddewo obuzibu ng’osanga omu ng’agamba nti bw’otakola bw’oti, obeera ovudde mu Busiraamu ate ng’abalala bakitankana nti si bwe kiri. Abamu bagamba bannaabwe nti, awo jjana ebeera ekusubye n’ebirala.
Bamasheikh bano bagenda kutuulanga n’oluvannyuma batuuke ku nzikiriziganya. Embeera y’okukontana baakizudde ng’erabikira nnyo ku Bamasheikh ababuulirira ku yintaneeti okuli; WhatsApp, facebook n’emirala
Sheikh Uthman Kibuuka y’akulira akakiiko ka Fatuwa ng’amyukibwa Sheikh Khassim Kayaaya Matovu ow’e Mbarara.
Waliwo akakiiko akaateereddwawo ng’obuvunaanyizibwa okubunyisa enjiri mu bantu. Balina okuteekawo enkola enaagobererwa ababuulira baleme kumenya mateeka n’okukikola mu ngeri etali ya buvunaanyizibwa. Sheikh Habib Abdallah y’akulira akakiiko n’amyukibwa Sheikh Abbas Ssenkuba.
Kamoga yagambye nti baliko ne pulojekiti endala ze bazze bakola ng’okutandikawo enkola y’okunaaza abafu, ekifo we baagala okuzimba Ummah House babuzaayo obukadde 57 bwokka okukisonjola.
Yasabye Abatabbuliki okukolagana obulungi n’eddiini endala zonna kubanga ensi erimu enzikiriza zonna

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});