Amawulire

Avunaaniddwa omusango gw'okubba ekyambalo ky'amagye

Omusajja asimbiddwa mu kkooti y'amagye e Makindye n'avunaanibwa omusango gw'okubba ekyambalo ky'amagye.

Ivan Musana ng'ali mu kaguli.
By: Judith Naluggwa, Journalist @New Vision

Bya Judith Nalugwa

Omusajja asimbiddwa mu kkooti y'amagye e Makindye n'avunaanibwa omusango gw'okubba ekyambalo ky'amagye.

Ivan Musana omutuuze w’e Luzira Kirombe mu ggombolola y’e Nakawa y'asimbiddwa mu maaso ga ssentebe wa kkooti y'amagye, Brigadier Freeman Mugabe n'asomerwa omusango gw'okubba ekyambalo ky'amagye okuva ku 'waya' kwe kyali kyanikiddwa, oluvannyuma n'akyambala n'ayokera ekitebe kyabambega ekya CMI e Mbuya n'abasaba okumuyingiza amagye.

Musana omusango guno agukkiriza, era yaguzza nga   September 19, bwe yasanga ekyambalo ky'amagye kye yaggya ku waya n'akyambala.

Munnamateeka we, Captain Simon Busagwa agambye nti ekyambalo teyakyanula ku waya wabula yakironda.

Asabye kkooti okumuwa ekibonerezo ekisaamusamu kuba okutwala ekyambalo kino kiraga nti yalina obwagazi bw'okuyingira amagye, nga y'ensonga lwaki bwe yakifuna yakyambala n'agenda e Mbuya n'abasaba okumuyingiza. Musana era yategeezezza nti yeegomba nnyo okuyingira SFC.

Brigadier Freeman Mugabe omusango agwongezzaayo okutuusa nga 28 omwezi guno lw'anaamusalira ekibonerezo.

 

Tags:
okubba
ekyambalo
magye
avunaaniddwa