Sam Okot nga muyimbi omuto ng'oluusi yeeyita Dizzo ate oluusi ne yeeyita Alliance omutuuze mu Agago West e Bweyale mu Kiryandongo disitukiti asibiddwa wamu ne Francis Akena eyeeyita Wadpaulo 20, omugoba wa bodaboda e Bweyale.
Brig Gen. Freeman Robert Mugabe, ssentebe wa kkooti bw’abadde asoma ensala ya kkooti abategeezezza nti tebazzanga ku musango, emisango ekikula kino gyeyongedde nnyo, bakkiriza omusango, era omusango guno gutwala emyaka 10 ng'ekibonerezo ssinga gukusinga.
Noolwekyo kkooti ebasaliddeko n’ebasiba emyaka 7 kyokka batoddeko emyezi esatu gye bamaze mu kkomera ssaako emyezi mukaaga egy'obwetoowaze nga kati baakusibwa emyaka mukaaga n'emyezi ebiri n’ennaku 15.
Mugabe abategeezezza nti baddembe okujulira mu nnaku 14 ssinga tebamatidde na nsala ya kkooti.
Ababiri bano omusango gw'okusangibwa n'ebyokulwanyisa bya UPDF baaguzza nga August 26, 2022 mu bbaala ya Platinum Guest House and Bar mu katawuni e Bweyale bwe baasangibwa nga balina amasasi 16 agagambibwa okuba aga UPDF. Bwe baasimbibwa mu kkooti omusango baagukkiriza.