Bakyakungubagira eyali minisita Karooro Okurut

EGGWANGA likyakungubagira eyaliko minisita Mary Karooro Okurut, 70, eyafiiridde mu ddwaaliro lya Agha Khan e Kenya ku Mmande akawungeezi.

Omugenzi Mary Karooro Okurut.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EGGWANGA likyakungubagira eyaliko minisita Mary Karooro Okurut, 70, eyafiiridde mu ddwaaliro lya Agha Khan e Kenya ku Mmande akawungeezi.
Sipiika wa Palamenti, Anita Annet Among yayogedde ku mugenzi ng’abadde ow’omugaso ennyo eri eggwanga kuba yaliko minisita w’abakozi, n’abeerako minisita mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda, minisita w’obutebenkevu, minisita w’ebyempuliziganya era minisita w’okulung’amya eggwanga.
Minisita avunaanyizibwa ku byobulamu ebisookerwako, Margret Muhanga yayogedde ku Karooro ng’abadde mukwano gwe,omusomesa era amuzimbye mu bintu ebiwera.
Avunaanyizibwa ku mbeera za bannamawulire abagasakira mu bitundu by’e Bushenyi, Abraham Muganzi yagambye nti, Karooro abayigirizza okwetandikirawo emirimu emirala egivaamu ssente n’okubafunira sikaala ezibayambye okweyongerayo okusoma. Buli lwe babadde bakuza olunaku lw’abaamawulire ng’abateeramu ssente era emirundi mingi abadde abeerawo mu buntu.
Akulira eby’okuteekesa mu nkola Manifesito mu ofiisi ya Pulezidenti, Willis Bashasha, yagambye nti, nga abantu abava e Bushenyi bafiiriddwa nnyo kuba omugenzi abadde talwana ntalo ne bw’oba omuwagira oba nga tomuwagira.
Hajji Hassan Basajjabalaba yagambye nti, omugenzi yamuyamba mu kutandika yunivasite ya KIU kuba yalina obukugu engeri gye yaliko omusomesa ku yunivasite e Makerere.
Karooro yazaalibwa mu 1954 e Bushenyi nga yasooka kusomera ku Bweryanyangi Girls Senior Secondary School, Trinity College Nabbingo n’oluvannyuma ne yeegatta ku Makerere University gye yafunira diguli esooka mu 1977.
Yafuna diguli eyookubiri mu yunivasite y’emu mu 1981 n’agattako ne dipulooma mu byenjigiriza era n’atandika okusomesa ku yunivasite e Makerere. Eyo gye yava ng’alondeddwa okubeera munnamawulire mu ofiisi ya Pulezidenti.
Yaliko omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Bushenyi era n’alondebwa ku bwaminisita mu bifo ebiwerako okutuusa lwe yawangulwa mu 2021. W’afiiridde ng’ateekateeka kuvuganya ku kifo ky’omubaka w’abakadde ow’ekitundu ky’obugwanjuba