Poliisi eyodde 20 ku by’okubba booda ne bazitema sipeeya

POLIISI ezzeeyo e Katwe n’ekola ekikwekweto fululabiswa, mw’ekwatidde boda boda enzibe, sipeeya omukadde, n’ekwata n’abantu abasobye mu 20 wakati mu kuwandagala kw’amasasi agabunyizza abasuubuzi n’abatambuze emiwabo.

Abaakwatiddwa nga bassiddwa ku loole ya poliisi. Wansi ze boda boda ezaakwatiddwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIISI ezzeeyo e Katwe n’ekola ekikwekweto fululabiswa, mw’ekwatidde boda boda enzibe, sipeeya omukadde, n’ekwata n’abantu abasobye mu 20 wakati mu kuwandagala kw’amasasi agabunyizza abasuubuzi n’abatambuze emiwabo.
Omulundi guno, ebitongole by’ebyokwerinda ebyenjawulo okubadde; Crime Intelligence, poliisi, JATT byegasse ne bakola ekikwekweto kino ku batunda sipeeya omukadde ne pikipiki enkadde era amasasi gaanyoose okumala akabanga okukkakkana ng’abantu 20 okubadde abasuubuzi ne bamakanika 20 babayodde ne pikipiki ezisobye mu 10 ziboyeddwa gattako n’entuumu ya sipeeya omukadde.
Ekikwekweto kiyindidde Katwe mu Wansanso Zone okumpi n’ekizimbe kya Muganzirwazza era wakati Poliisi okukola ekikwekweto oluguudo olugatta Katwe ku Lubiri lwaggaddwa okumala essaawa nga ttaano bannannyini sipeeya akwatiddwa ne balagirwa okugenda ku poliisi okuwaayo obujulizi.
Ssentebe wa zooni ya Wansanso awatundirwa sipeeya wa pikipiki Yose Lumala Kaweesa yategeezezza nti, nabo tebaasoose kutegeera ku kikwekweto, beekanze ba byakwerinda nga basazeeko ekifo kyonna, ne baggala oluguudo ne batandika okuwenja sipeeya nepikipiki.
Ono agamba nti, bakitegeddeko nga waaliwo pipiki z’ekitongole ekimu ku bya maanyi mu ggwanga ezabbibwa, ng’abebyokwerinda baakitegeerako nti zaatuusibwa e Katwe ne zitemebwamu sipeeya, nga y’ensonga lwaki we baatuukidde okufuuza sipeeya yenna okulaba nga bazikwata.
Omu ku basuubuzi ba pikipiki ataayagadde kwatuukiriza mannya ge yategeezezza nti, ekikyasibye obubbi bwa pikipiki mu ggwanga y’ensonga y’abamu ku b’ebyokwerinda ate okukolagana n’ababbi ba pikipiki.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Luke Oweyesigire yategeezezza nti, ekikwekweto kibadde ku babbi ba pikipiki ne bodaboda