NNAMUKADDE Samuel Kawuba 93, owe Bbanda Bugenderaddala, Mukono Nakisunga Mutuba I Kyaggwe, alaajana lw’abagambibwa okubeera bannanyini ttaka b’agamba nti baamufera okumukolera ekyapa okuva mu kibanja kye kati giweze emyaka etaano bukya bamulimba kati anoonya bwenkanya.
Kawuba agamba nti yagula ekibanja mu 1963 okuva ku mwami Yoseph Mukasa Shs.700 eyamutwala ewa eyali akuuma ettaka Tina Bakanansa n’amukakasa okutandika okukikoleka okutuusa mu 2020 abavubuka bana lwe bajja nga bagamba be bannanyini ttaka.
Kuno kwaliko Steven Bazannye n’abalala eyagamba nti bebavunaanyizibwa ku ttaka lino era baamuwa obuyinza okulabirira ettaka. Yakola endagaano naye n’amuwaako yiika ssatu ne Decimolo 65 ze baamugamba nti bagenda kumuweerako ekyapa oludda olwasigala ne luddizibwa bannayini.
Muzeeyi Kawuba agamba nti bakkiriziganya okumuwa ekyapa kye oluvannyuma lw’okukakasibwaa okuva ku ssentebe nti ddala be bannannyini abatuufu. Agamba nti baamuwa ekiseera kya myezi esatu okulaba nga kimuweereddwa kye yasanyukira.
Kawuba agamba nti atambudde kati emyaka etaano ng’abanja ekyapa kyokka mbu bano beeremye okukimuwa. Yagambye nti bw’agezaako okutuukirira Ssentebe amuddamu kimu nti “naye naawe Kawuba opapa nnyo ekyapa kigenda kujja”.
Yategeezezza nti n’ekisinga okumuluma olw’okuba tebaapima bunene bwa ttaka okuggyako okumwawulizaako ky’agamba nti kyali kitono okusinziira ku kiseera kya myaka 50 gy’amaze ku kibanja. Yagambya nti baatuuka n’okusaawa ebikajjo bye bye yali yasimbako olunaku lwe bajja okwerula empenda z’ettaka.
Abatuuze nga balaga ettaka lya Mzee
Ronald Luutu mutabani wa Kawuba yagambye nti bwe baakola okunoonyereza ku ttaka lino nga liri mu mannya g’akola ku nsonga z’abafu nga teri alivunaanyizibwako ky’agamba nti baaliba baamulimba olw’okuba ekyapa ekyogerwako tekiri mu mannya gaabwe.
Ono yagambye nti kitaabwe yabalaga ekibanja we kiyita kye yabagamba nti yagula, era bano baakula bamanyi waabwe. Yagambye oluvannyuma lw’abantu bano okujja, baagezaako okwekubira enduulu mu b’obuyinza naye tebayambiddwa n’asaba baddizibwe ku ttaka lyabwe.
Ssentebe w’ekitundu Christopher Ssekajja bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti ye tabeerangako na ttaka era tajjangako na muntu yenna n’agamba nti be baakolagana nabo babamanyi kuba ye yakola nga mujulizi mu nsonga zaabwe nga baawaaba n’ensonga mu kakiiko k’ebyettaka ak’Omumaka g’omukulembeze w’eggwanga.
“Nze nava ddi ku kyalo ne ngenda ndeeta abantu abo, baleme kukulembeza bukyayi boogere amazima n’ensonga zaabwe bamanyi gye bateekeddwa okuzitwala, tebalina kye bammanja kuba sirina ttaka nagezaako okubalwanirira naye obukyayi bwe balina bujja ku babuza nnyo, Ssekajja bwe yagambye.
Bazannye ayogerwako okubeera omu ku bannannyini ttaka yategeezezza nti Kawuba agenze mu bifo bingi mu b’obuyinza ne babayita n’abaffamire era ensonga bazze bazituulamu. Yagambye nti ekikyasibye ye “SR”, bannayini ttaka abateekeddwa okumuwa ekyapa balina okusooka okubifuna kuba biri w’avunaanyizibwa ku nsonga z’abafu.
“Abalina ebiraamo ebyakolebwa ab’ekika kkooti yabiyimiriza kati tebinnaba kuvaayo kati kye tulinze muzeeyi afune ekyapa, bannannyini ttaka muzeeyi kw’alina ekibanja nnyabwe yafa kati bakyakola ku bbaluwa zibawa buyinza okuddukanya ettaka era abanaaba bafunye obwannanyini obutuufu be banaamuwa ekyapa kye era tumusaba agumiikirize mu wiiki bbiri. Bazannye bwe yagambye.