Bino abyogeredde ku ssomero lya Sir Tito Winyi Primary School mu disitulikiti y’e Kikuube, bw’abadde agenze okwetaba ku musomo ogwategekeddwa woofiisi y’ebyettaka e Masindi, nga gwagendereddwamu okugonjoola emivuyo egisusse ku ttaka e Kikuube, ne mu Bunyoro wonna.
Mayanja yennyamidde olw’abagagga abagobaganya abantu ku ttaka, ng’abamu beekulubeesa ku bukama bwa Bunyoro nti bwe bubawa ettaka, kye yagambye nti tajja kukigumiikiriza, newankubadde okutiisibwatiisibwa kubanga amateeka g’ettaka agamanyi bulungi, ate ne pulezidenti yamuwa amaanyi n’obuyinza okwenganga ensonga y’ettaka mu ggwanga.
Mayanja yasuubizza nti agenda kusazaamu n’ebyapa byonna ebinaazuulibwa nga byafunibwa mu mankwetu, naddala ebitudde ku binnaabyo, n’ebyagabibwa oluvannyuma ng’amafuta gamaze okuzulibwa mu kitundu ekyo.
Abatuuze baakukkulumidde bassentebe baabwe ku byalo olw’okukukuta n’ababbi b’ettaka nga babagulira enkoko n’okubawa obusente, ne bateeka emikono ku mpapula ezikakasa nti ku ttaka nti tekuli bantu, olwo aba woofiisi y’ebyettaka ne baligabako ebyapa kyokka nga kuliko abantu abaliwangaaliddeko emyaka mingi.
Adah Kembabazi, omu ku batuuze yasabye minisita alagire babakendeereze ku nsimbi ezibasabibwa okufuna ebyapa bafune obwannannyini ku ttaka, kubanga ze babagamba nnyingi tebazisobola.
Abamu ku bantu abaakungaanye okusomesebwa ku by'ettaka
“Twagala gavumenti eteekewo ssente ez’essalira ku kufuna ebyapa, kubanga mu woofiisi gye tugenda buli omu ayogera zize, ate nga basaba nnyingi” Kembabazi bwe yategeezezza.
Omubaka wa pulezidenti e Kikuube, Imran Tumusiime yawanjagidde minisita ayongerwe obukumi, olw’okutiisibwatiisibwa ababbi b’ettaka b’alwanyisa, nti bajja kumutuusaako obulabe. Tumusiime yennyamidde olw’akakiiko k’ebyettaka obutatuuka ku ttaka lye kagabako ebyapa, ne balinda ebbaluwa ya ssentebe, kyokka nga naye yalidde enguzi, ekireetedde emivuyo ku ttaka okweyongera.
Ye omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kikuube, Florence Natumanya Bangirana yasabye nti waakiri mu kulambula ettaka, abatuuze abaliriraanyeeko baweeyo kkopi z’endagamuntu zaabwe, ng’osanga kino kijja kukendeeza ku kibba ttaka. Natumanya yawanjagidde minisita nti disitulikiti y’e Kikuube eteekebweko eriiso ejjogi kubanga abantu baayo bayinza okukomekkereza nga babundabunda, olw’abagagga abeeyongedde okubabbako ettaka.
Sharon Namombwe, avunaanyizibwa ku kugaba ebyapa mu woofiisi y’ebyettaka e Masindi yategeezezza nti bafubye okusomesa abantu, kyokka bagenda kwongera okutereeza mu mirimu gyabwe, nga bagenda kutandika okulambula amataka nga tebannaba kugagabako byapa.
Yasabye abantu bulijjo okuwandiikira akakiiko nga balina okwemulungunya, okusinga okusirika olwo ababbi ne beegazaanya. Yayongeddeko nti newankubadde etteeka libakkiriza okukola ebyapa, etteeka lye limu libawa olukusa okusazaamu ebyo ebitaayita mu mitendera.
Minisita era yatuuseeko mu nkambi y’ababundabunda abasoba mu 1000 esangibwa e Kijayo, nga bano baagobebwa ku ttaka okwasimbibwa ebikajjo bya kkampuni ya Hoima Sugars emyaka 7 egiyise, nga n’okutuusa kati tebaliyirirwanga. Yasuubizza okukolagana n’abakulembeze okulaba ng’abantu bano bafuna emmere mu bwangu okuva mu woofiisi ya ssaabaminisita, n’enteekateeka zikolebwe bafune we babasengulira, buli omu aweebwe ssente eziggya mu ttaka lye eryatwalibwa.
Kigambibwa nti waliwo omulangira Kimera eyaguza abayindi ettaka lino ng’agamba nti lyamuweebwa obukama, kyokka mu kubasengula baatikka ku bimotoka ng’omusenyu, nga n’ebintu byabwe byayonoonebwa naye tebaasasulwa.