WABALUSEEWO akasattiro mu bitongole ebyokwerinda, oluvannyuma lwa lipoota eyakolebwa bambega ba Amerika ab’ekitongole ekikessi ekya FBI ku kuttibwa kwa Afande Andrew Felix Kaweesi okubula!
Ebyokubula kwa lipoota ya FBI bivuddeyo oluvannyuma lwa Poliisi n’ebitongole ebikessi okuddamu buto okunoonyereza ku kutemwa kwa Afande Kaweesi, omukuumi we Keneth Erau, ne ddereeva we Godfrey Mambewa, abaasindirirwa amasasi nga March 17, 2017 ku luguudo lwa Kasana-Kulambiro, e Buto mu divizoni y’e Nakawa.
Ettemu lino lyayuuguumya eggwanga era Poliisi n’ebitongole ebyokwerinda ebirala byasitukiramu okunoonyereza era ttiimu y’abakugu mu kunoonyereza aba ‘ Directorate of Forensic Services’ baaweereza ebizibiti omwali ebisosonkole by’amasasi 23, ebifaananyi ebyakubwa ne magaziini y’emmundu eri ekitebe kya FBI e Nairobi mu Kenya, okwongera okubyekebejja, okulaba engeri gye bibayambamu okutuuka ku batemu.
FBI yatandika okwekebejja ebintu bino mu labalatole yaayo, ku nnamba 2017-01183-3 ne fayiro y’omusango ku nnamba 163G-NI-2145960, ku nnaku z’omwezi nga June 8, 2017.
Bukedde yakitegeddeko okuva mu nsonda mu Poliisi nti ebyazuulwa FBI byateekebwa mu fayiro n’eweebwa abakulira Poliisi, kyokka emyaka munaana egiyiseewo, fayiro eno etuuse kubula nga teweebwanga bambega abali ku mulimu gw’okunoonyereza ku ttemu lino, okubayambako okugeraageranya bye baazuula!
Ensonga eyalemesa lipooti eno okuweebwa bambega abanoonyereza mu bugenderevu tennaba kutegeerekeka, kyokka ng’erowoozebwa okuba nga y’emu ku bireetedde okunoonyereza ku musango guno obutavaayo bulungi.