OMUDUUMIZI wa Poliisi Abaas Byakagaba akyusizza abadde omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga n’amusindika okumyuka Dayirekita wa Interpol.
Ekifo kya Enanga, kiweereddwa Moses Kituuma Rusoke eyaliko mu KCCA ng’akulira ebyokwerinda mu biseera bya Jennifer Musisi Mu nkyukakyuka zino, IGP omupya Abaas Byakagaba akyusizza boofiisa 150 nga Steven Tanui abadde aduumira Poliisi mu Kampalan’emiriraano, n’omumyuka w Paul Nkore nabo baakyusiddwa.
Tanui yasindikiddwa mu kitongole kya Poliisi ekizikiza omuliro ng’omumyuka wa Fadil Kaali akikulira, ate Nkore yasindikiddwa okukulira okusomesa ebyobufuzi mu Poliisi.
Richard Ecega abadde akulira ekitongole kya poliisi ekigaba layisinsi eri abaagala emmundu (Private Fire Arms) n’okulondoola ebitongole by’obwannannyini ebikuumi kati ye muduumizi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, ng’amyukibwa Gerald Twishime abadde aduumira poliisi ya Kampala North.
Rogers Sseguya yasindikiddwa okuduumira poliisi mu Kampala East, ate Moses Nanoka n’asindikibwa okuduumira poliisi mu Kampala North. Christine Nanding yasindikiddwa okukulira ekitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa ku kukwasisa abaserikale empisa (PSU) ng’adda mu bigere bya Sarah Kibwika eyasindikiddwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu mu poliisi.
Denis Namuwoza yasindikiddwa okubeera kamisona mu kitongole kya poliisi ekizikiza omuliro. Joseph Obwona yaggyiddwa mu kitongole kya poliisi y’ensi yonna n’asindikibwa mu ofiisi y’omuduumizi wa poliisi okukola emirimu egy’enjawulo. Babra Alungati yalondeddwa okukulira ettendekero lya poliisi e Bwebajja, Suleiman Kirungi, yalondeddwa okukulira poliisi y’oku mazzi, Patrick Lawot yalondeddwa okumyuka akulira ekitongole kya poliisi ekirwanyisa obutujju, CP James Ruhweza yasindikiddwa
okubeera kamisona avunaanyizibwa ku bikwekweto.
Jonathan Musinguzi kati y’aduumira poliisi mu Kampala East, Charles Nsaba yasindikiddwa okuduumira poliisi mu Kiira, Frantile Lwamusaayi yasindikiddwa okuduumira poliisi mu kitundu kya Busoga North. Hassan Ssekalema abadde aduumira poliisi y’e Nateete yasindikiddwa okuduumira Poliisi e Kotido, SP Robert Kacuumu n’amuddira mu bigere.
LWAKI ENANGA AKYUSIDDWA
q Ensonda zaategeezezza nti IGP atandise okuzimba Poliisi mu ngeri gy’ayagala atambuzeemu emirimu n’okukyusa ekifaananyi kya Poliisi mu bantu. q Enanga eyatwaliddwa mu kitongole kya Poliisi y’ensi yonna, ng’omumyuka wa dayirekita waakyo Grace Akullo abadde yafuuka ekifaananyi kya Poliisi mu bantu nga kyenkana asinga IGP okuvuga
mu bantu. q Ensonda zaateegezzezza nti Enanga abadde aludde nnyo mu kifo kino, nga akiweerezzaamu enfunda bbiri ez’enjawulo, era mu byafaayo bya Poliisi ye mwogezi
wa Poliisi asinze okulwa mu kifo kino, ng’eno y’emu ku nsonga lwaki Byakagaba yasazeewo okumukyusa. q Enanga yasooka okulondebwa mu kifo kino mu 2014, ng’adda mu bigere bya Judith Nabakooba, kyokka n’akyusibwa mu 2016, n’asikizibwa omugenzi Andrew Felix Kaweesi. Kaweesi bwe yattibwa mu 2017, ekifo kino kyalondebwamu ko Asan Kasingye kati eyawummula, ne Emiliano Kayima. Wabula mu 2019, Enanga yakomezebwawo mu kifo kino, era akibaddemu okumala emyaka etaano be ddu nga tanyenyezebwa.
Ensonga endala, eyaleetedde Enanga okukyusibwa, y’ey’okuba nga Omuduumizi wa Poliisi omupya naye ayagala kuzimba ttiimu mpya gy’anaakola nayo, okusobola okuwa
abaerikale abalala omukisa nabo okwolesa ku bitone byabwe.
ENANGA Y’ANI?
Fred Enanga yazaalibwa June 23, 1973. Emirandira gye gisibuka mu disitulikiti y’e Apac, mu ggombolola y’e Akokoro, kyokka nga yazaalibwa Kampala era gye yasomera, kubanga kitaawe George Econga Okabo gye yali akolera nga muserikale
wa Poliisi. Enanga yayingira Poliisi mu 2001, era n’aweerezaako mu bifo ebyenjawulo, omuli n’ekya kamisona wa Poliisi avunaanyizibwa ku by’ettaka. Enanga yaweebwa omudaali gw’abazira era waayita ekiseera kitono ne bamulinnyisa eddaala, n’afuuka Senior Commissioner of Police, nga abeera nnamba nnya mu madaala ga Poliisi