BANNAMATEEKA ba Pulezidenti w'ekibiina kya National Economic Empowerment Dialogue Joseph Kabuleta,bavumiridde engeri omuntu waabwe gyeyakwatiddwamu nga baagala poliisi ebakkirize okumulaba mbagirawo oba si ekyo baakwekubira enduulu mu mbuga z'amateeka.
Kino kidiridde Kabuleta okukwatibwa poliisi olunaku olwajjo bweyagiddwa ku kitebe ky'ekibiina ekisangibwa e Bugoloobi ekintu ekyaleesewo akasattiro mu Bannakibiina kye abasigadde mu kwewunaganya nga bewuunya abantu ababadde mu ngoye ezabulijjo gyebaabadde batwala mukama waabwe kyokka oluvannyuma Poliisi yafulumizza ekiwandiiko nga ekakasa okukwatibwa kwa Kabuleta kubigambibwa nti yasasaanya amawulire agasiga obukyayi n'okusosola mu mawanga gyebuvuddeko
Bannamateeka ba Kabuleta nga bakulembeddwamu,Ivan Bwowe basinzidde mu lukungaana olutuuziddwa ku kitebe kya NEED ekisangibwa e Bugoloobi ne bavumirira engeri omuntu waabwe gyeyakwatiddamu nga bagamba nti emenya amateeka ne bawakanya n'ekya poliisi okugamba nti omuntu waabwe yayitibwa okweyanjula gyebuvuddeko kubyekuusa ku kusosola mu mawanga neyerema nga bwekyalambikiddwa mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa Poliisi ku kukwatibwa kwa Kabuleta.
Munnamateeka Bwowe,agambye nti Kabuleta ng'omuntu eyavuganyako ku Ntebe y'omukulembeze tayinza kukwatibwanga mubbi wa kasimu n'ategeeza nti abasajja omukaaga abaabadde mu ngoye ezabulijjo,abaakutte Kabuleta byonna byebaakoze byabadde bimenya mateeka olw'ensonga nti amateeka agalambika ku butya omuntu ateberezebwa okuba n'omusango tegaagobereddwa.
Ono agambye nti ebibapula byennyini ebiyita Kabuleta okweyangula ku Poliisi ya CPS ebyamuweebwa nga ennaku z'omwezi Ssatu omwezi guno nabyo byennyini poliisi yabiweereza kawungeezi ng'ate ebiraga nti yalina okweyanjula ku poliisi kumakya g'olunaku olwo lwennyini n'ategeeza nti nga Munnamateeka yagenda ku poliisi ya CPS okumanya ensonga nti kyokka ne bamusindika e Kibuli nti era babadde bakyalondoola ensonga zonna nti ekyabewuunyisizza ye muntu waabwe okukwatibwa mu ngeri etategerekeka!
Wadde nga Poliisi yakkirizza nti y'erina Kabuleta kyokka Bannamateeka be bagamba nti bo tebamanyi poliisi ntuufu gy'akumirwa nga ne famile yennyini eri mukusoberwa olw'obutaweebwa mukisa kulaba muntu waabwe nga bagamba nti poliisi eteekwa okubakkiriza okulaba omuntu waabwe mbagirawo oba si ekyo baakweyongerayo mu mateeka okulabanga omuntu waabwe afuna obwenkanya.
Bo Bannakibiina kya NEED abetabye mu lukungaana lwa Bannamawulire luno nga bakulembeddwamu Ssabawandiisi w'ekibiina,Asuman Odaka n'abalala balaze obutali bumativu olw'engeri abasirikale abaabadde mu ngoye eza bulijjo bwebaazinzeko ekitebe kyabwe okukwata mukama waabwe Kabuleta nga bagamba ebyakoleddwa byandibanga bigendereddwamu kulinnyirira ddembe lye ery'okwogera ne batiisatiisa okusasaanya ebifaananyi by'abasirikale abaatutte omuntu waabwe singa tebaweebwa mukisa kumulaba mu bwangu