Amawulire

Kkooti enkulu egobye ogw'okusazaamu abeesimbyewo ku ky'omubaka owa Nakawa West !

Kkooti enkulu mu Kampala egobye okusaba kwa munnanateeta Ivan Bwowe kwe yassaamu ng’ayagala abantu musanvu abavuganya ku ky’omubaka wa palamenti owa Nakawa West basazibwemu olw’ensobi ze baakola ku mpapula zaabwe.

Kkooti enkulu egobye ogw'okusazaamu abeesimbyewo ku ky'omubaka owa Nakawa West !
By: Margaret Zalwango, Journalists @New Vision

Kkooti enkulu mu Kampala egobye okusaba kwa munnanateeta Ivan Bwowe kwe yassaamu ng’ayagala abantu musanvu abavuganya ku ky’omubaka wa palamenti owa Nakawa West basazibwemu olw’ensobi ze baakola ku mpapula zaabwe.

Bwowe nga naye avuganya ku kifo ekyo yasooka kuwaaba ku kakiiko ke’byokulonda ng’agamba abavuganya omusanvu baasunsulwa kuvuganya ku kifo ekiyitibwa Nakawa West ng’ate ssemateeka alambika ekifo kiyitibwa Nakawa Division West.

Akakiiko k’ebyokulonda kaagoba okusaba kwe bw’atyo n’addukira mu kkooti enkulu ng’ayagala alangirirwe nti ayiseemu bulambalamba kubanga ye yekka eyawandiika ekifo ekituufu ekimanyiddwa ssemateeka.

Kyokka omulamuzi Collins Achellam mu nsala ye agambye nti ensobi eyakolebwa teyinza kusazisaamu balala abeesimbyewo ng’era kkooti ejja kuba etuulidde omukisa gw’abalonzi mu Nakawa Division West Constituency okulonda omuntu waabwe gwe baagala okubakiikirira.

Bwowe yali yawawaabira akakiiko k’ebyokulonda, n’abeesimbyewo okuli akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Joel Ssenyonyi ali ku kkaadi ya NUP, Anderson Burora owa NRM, Okuye Felix , Happy Nasasira, Wilberforce Kyambadde ne Miles Rwamiti era kati bonna basigadde mu lwokaano mu kalulu akakubwa omwezi guno nga 15.

Tags:
Ivan Bwowe
Musango
Kusazaamu
Kkooti
Kugoba