EKIBINJA kya bannamateeka abazze ku kkooti okuwolereza Dr Kizza Besigye, bayingiridde kumu mu ngeri y’obumaliririvu n’okuwaga nga kye bazzeeko bakikakasiza ddala kyokka byawedde, Besigye omwaka omupya waakuguyingirira mu kkomera.
Olutuula lwa kkooti y'amagye lwabadde lujjudde katemba kuba tewaabadde nsonga yassiddwaako ssira bakira buli looya ensonga emuluma gy'aleeta, okuva ku babaaza ku ggeeti okutuuka mu kkooti abamu gye baamazeeko olutuula lwonna nga bayimiridde ng'abajaasi abakuuma abasibe.
Dr Kizza Besigye ne Hajji Obeid Lutale Kamulegeya, baabadde bakomezeddwaawo okuwulira ensala ya kkooti ku kusaba kwe bassaamu nga bawakanya okuwozesebwa mu kkooti y’amagye ng’ate kkooti etaputa Ssemateeka yalambika abantu ba bulijjo bawozesebwe mu kkooti za bulijjo.
Ebbanga teryabadde ddene fayiro ya Besigye n'eyitibwa era ye yasooseewo olwo ne bayingira mu kaguli. Loodi Meeya Erias Lukwago ye yasoose n'ayanjula ttiimu ya bannamateeka 42 ku mulundi guno abazze okuwolereza abawawaabirwa nga ku bano kuliko Gisheru Kimei eyavudde e Kenya ne Margaret Nangacovie okuva Angola nga beegasse ku Martha Karua eyasooka okujja.
Olw'obungi bwa bannamateeka bano, baabadde tebagya mu kifo ekiteekeddwa okutulwamu balooya abajaasi kwe kubawa akatebe aka foomu batuuleko, kyokka baakagaanye nga bagamba kabayimirire kuba amateeka tegaabamenyera bwereere.
N'abaabadde batudde bakira beekukunise nga bukoko obuyitiddwamu empewo kumpi buli omu abula kutuula ku munne.
Nga bamaze okubasoma amannya, Lukwago yategeezezza kkooti nti munnamateeka munnaabwe Ronald Iduuli omu ku bawolereza Besigye yawambiddwa nga bukya ku Lwokubiri okuva mu maaka ge e Bulenga noolwekyo ttiimu yaabwe tewera.
Yayongeddeko ne Martha Karua alina okukulembera ekibinja kyabwe tannafuna bbaluwa okuva mu Uganda Law Council kuba baagobye okusaba kwe nga basinziira ku nsonga ez'enjawulo ze bali mu kukolako kati.
Lukwago yagambye nti eky'ennaku nti abawaawabirwa tebaamuwadde lukusa kukulemberamu kibinja kino era tayinza kwetumiikiriza. Yeewuunyizza ekigaanyisizza Karua okuweebwa ebiwandiiko ng'ate Uganda eri mu mukago gwa East African Intergration era alina paasipoti ya East Africa.
Wano omuwabuzi wa kkooti, Brig. Richard Tukachungura yalagidde Lukwago akome awo kuba byonna baabadde baabisomye mu mawulire.
Ye Luyimbaazi Nalukoola, yalombozze ennaku gye bayitamu ku kkooti eno ebakamula ne badda awaka nga balinga abava okukola dduyiro. Yagambye nti abajaasi okuva ku miryango, bakwaza ng'omubbi. Bakira buli ayogera, kkooti eno agiyita kakiiko ekyatabudde Tukachungura n'abalabula nti mu tteeka lya UPDF ennyingo 212 akawaayiro 9, kassaawo kkooti eno n'alambulula n'abalina okugituulako. Yakkaatirizza nti alina obuyinza obw'enkomeredde mu kkooti eyo.
Eron Kiiza yagambye Tukachungura nti ekigambo kye bakozesa mu Lungereza ekya 'Tribunal' kitegeeza kkooti nga eno ey'amagye. Ivan Bwowe eyasangiddwa mu kibinja ekiyimridde yamubakidde mangu nti mu mateeka, bannamagye si bantu ba
bulijjo nga bwe babitaputa. Eyogera ku bajaasi n'akakiiko ak'abakwasisa empisa.
Kiiza yategeezezza kkooti eno obwedda gy'ayita akakiiko nti balina ensonga 3 okuli bannamagye okuwamba abantu baabwe, bannamateeka 3 abaavudde ebweru w'eggwanga abatannafuna bbaluwa ne kkooti okugenda maaso nga bannaabwe bayimiridde nga ente.
Ssentebe wa kkooti, Brig. Freeman Robert Mugabe yabategeezezza nti baategekedde abantu 10 kuba be baawaayo bbaluwa zaabwe ezikakasa nti bannamateeka era abaasigadde abaayimiridde tebaawaayo bbaluwa. Ku ky'abawambibwa, Mugabe yagambye nti ekikulu kkooti ye si ye yabawambye noolwekyo gye balina okuloopa bamanyiiyo.
Omuwaabi wa Gavumenti, Col. Rapheal Mugisha yabaanukudde nti ku nneeyisa gye balaze mu kkooti eraga lwaki abajaasi babayisa bwe batyo wabweru wa kkooti ne yennyamira olwa Lukwago ne banne obutava mu mawulire nga bakubaganya ebirowoozo ku musango oguli mu kkooti ekimeya amateeka.
Mugisha olwatudde, Lukwago n'amwambalira nti oba tebaagala kuboogerako bayimbule, Besigye n'amujjukiza nti okwogera ku musango kumenya mateeka ssinga guba mu kkooti ekkirizibwa mu mateeka akatali akakiiko ka bannamagye. Abakulu bwe baalabye ng'embeera tegenda kukutulwa leero, ne balagira Besigye ne Lutale bazzibwe mu kkomera okutuusa nga January 7, 2025 lwe banadda okufuna ensala ya kkooti