EKIBINJA kya bannamateeka abazze ku kkooti okuwolereza ku kkooti bayingiridde kumu mu ngeri y’obumaliririvu wabula kibaweddeko Besigye bw'abalemye okuggya mu kkomera ne bamuzzaayo okutuusa nga n’okuwaga nga kyebazzeeko bakikakasiza ddala, byawedde Besigye omwaka aguyingiridde mu kkomera.
Bannamateeka nga ba Besigye nga bali ku kkooti
Olutuula lwa kkooti lubadde lujjudde katemba kubanga tewabadde nsonga yasimbiddwako linnyo bakira buli looya ensonga emuluma gyaleeta , okuva ku bakebera ku ggeeti okutuuka mu kkooti wabula ng'abamu ku bapuliida obwedda bayimiridde nga balinga abasirikale abakuuma abasibe.
Dr Kizza Besigye ne Hajji Obeid Lutale Kamulegeya babadde bakomezeddwawo okuwulira ensala ya kkooti ku kusaba kwabwe kwebassaamu nga bawakanya okuwozesebwa mu kkooti y’amaggye ng’ate kkooti etaputa ssemateeka yalagira abantu baabulijjo bawozesebwe mu kkooti zaabulijjo.
Ebbanga teryagenze ddene fayiro ya Besigye ne Lutale ne yitibwa era yeyasoosewo ku lukalala olwo ne balinnya mu kaguli.
Loodi Meeya Erias Lukwago yeyasoose nayanjula ttiimu yabannamateeka 42 ku mulundi guno abazze okuwolereza abawawabirwa nga ku bano kuliko Gisheru Kimei eyavudde e Kenya ne Margaret Nangacovie okuva Angola nga beegasse ku Martha Karua eyasooka okujja.
Olw'obungi bwa bannamateeka bano babaadde tebaja mu kifo ekiteekeddwa okutulwamu ba looya abajaasi kwekubawa akatebe aka foomu batuuleko , kyokka bakagaanye nga bagamba wakiri kabayimirire kubanga amateeka teegabamenyera bwereere okubatuuza mu bataagasoma.
Babadde batudde bakira bekukunise nga bukoko obuyitiddwamu empewo nga buli omu abula kutuula ku munne.
Mugabe ng'annyonnyola 
Nga bamaze okubasoma amannya Lukwago yategeezezza kkooti nti munnamateeka munnaabwe Ronald Iduuli omu kubawolereza Dr Besigye yawambiddwa nga bukya ku Lwokubiri okuva mu maakage e Bulenga n'olwekyo ttiimu yaabwe tewera.
Yayongeddeko ne Martha Karua alina okukulembera ekibinja kyabwe tannafuna bbaluwa okuva mu Uganda Law Council kubanga baagobye okusaba kwe nga basinziira ku nsonga ezenjawulo zebali mu kukolako kati okulaba nga bagifuna awolereze Besigye ne Lutale.
Lukwago agambye nti eky'ennaku ye abawawabirwa teebamuwadde lukusa kukulemberamu kibinja kino era tayinza kwetumikiriza okuggyako ng'afunye ebiragiro bwebityo ne yewunya ekiganyisizza karua okuweebwa ebiwandiiko ng'ate Uganda eri mu mukago gwa east African intergration era alina paasipoti ya east Africa eyamuleeta mu Uganda.
Wano omuwabuzi wa kkooti mu mateeka brig Richard tukachungura alagidde lukwago akome awo kubanga byonna babadde baabisomye mu mawulire wadde Lukwago yewunyizza engri bano gyebesiga amawulire okusinga bannamateeka abaabadde ne kkopi yokusalawo kwa Law Council.
Bannamteeka bakira buli omu ensonga emuluma gyaleeta , era ye LuyimbaazI Nalukoola yalombozze ennaku gyebayitamu ku kkooti eno ebakamula ne badda awaka nga balina abava okukola dduyiro. Agambye nti abajaasi okuva ku ggeeti okuyingira kkooti obeernga ng'atambudde eggendo eddene ,bakira bakwaza bwebakuzza neeri.
Bakira buli obwedda asituka okwogera kkooti agiyita kakiiko ekyatanudde Tukachungura n'abalabula nti mu tteeka lya UPDF enyingo 212 akawayiro 9 kateekawo kkooti ne lambulula n'abalina okutuula ku kkooti eno. Abajjukizza nti alina obuyinza obwenkomeredde mu kkooti eyo.
Eron Kiiza agambye Tukachungura nti ekigambo kyebakozesa mu luzungu ekya “tribunal” kitegeeza kkooti ng'eno eyamaggye mwebatudde. Yamusabye baleme kuwanyisganya bigambo.
Ivan Bwowe eyasangiddwa ng'ali ku kibinja ekiyimridde yamubakidde mangu nti amateeka gonna gaasomye gakola ku bannamaggye si bantu baabulijjo nga bwebabitaputa era tewali weyogera ku muntu waabulijjo. Eyogera ku bajaasi n'akakiiko akabakwasisa empisa.
Kiiza atgeezezza kkooti ensonga obwedda gyayita akakiiko nti balina ensonga ssatu okuli bannamagye okuwamba abantu baabwe ,bannamteeka abasatu abavudde waberu w'eggwanga abatannafuna bbaluwa ssaako kkooti okugenda maaso nga bannaabwe bayimiridde ng'ente.
Ssentebe wa kkooti brig freeman Robert Mugabe abategeezezza nti bategekedde abantu 10 kubanga beebawaayo ebbaluwa zaabwe ezikakasa nti bannamateeka n'olwekyo abaasigadde bayimiridde tebawaayo bbaluwa era n'abategeeza nti atataddeyo bbaluwa ye ewomuwandiisi wa kkooti tagenda kugenda mu biwandiiko nga looya mu musango guno.
Mugabe ku kya bwambibwa abagambye nti ekikulu kkooti ye siyeyabawambye n'olwekyo gyebalina okuloopa bamanyiiyo....
Omuwaabi wa gavumenti Col Rapheal Mugisha abanukudde nti kuneeyisa gyebalaze mu kkooti eraga lwaki abajaasi babayisa bwebatyo wabweru wa kkooti ne yenyamira olwa Lukwago ne bannamateeka abalala obutava ku mikutu gy'amawulire nga bakubaganya ebirowoozo ku musango oguli mu kkooti kyeyagambye nti kimeya mateeka.
Mugisha era abuuzizzza Kiiza ekimukozesa dduyiro napika obunyama buli lwabeera ajja mu kkooti. Kyokka Kiiza amugambye ye tayaggala akole mugejjo ng'abamu ku bali mu kkooti awo.
Kkooti yanyumidde ababaaddemu era bakira bwebakuba engalo ne nduulu mu ngeri erowozesa ali wa bweru nti munda kkooti siyetudde.
Mugisha olwatudde Lukwago n'amwambalira nti oba tebaagala kuboogerako bayimbule Besigye n'abalala n'amujjukiza nti okwogera ku musango kumenya mateeka ssinga gubeera mu kkooti ekkirizibwa mu mateeka akatali kano akakiiko kaabannamaggye.
Yayongeddeko nti waliwo ensala ya kkooti etamenyebwangawo ekugira abantu baabulijjo okuwozesebwa mu kkooti za bantu baabulijjo kyokka akakiiko kano kakyawozesa abantu abo.
Abakulu bwebaalabye ng'embeera tegenda kukutulwa leero , kkooti ne lagira Besigye ne Lutale bazzibwe mu kkomera okutuusa nga January 7,omwaka ogujja lwebanadda okufuna ensala ya kkooti.