Bannamukono nga bakulembeddwamu omubaka omukazi owa Munisipaali y’e Mukono Betty Nambooze Bakireke baloopedde Robert Kyagulanyi Ssentamu obulyake obugenda mu maaso mu kibangirizi kya bannamakolero e Namanve.

Abawagizi ba Bobi ku bbooda ng'abayisa ebivvulu.
Nambooze ategeezezza nti Namanve kyali kibira abavubuka mwe basima ng'omusenyu wabula gavumenti yakigabira bamusigansimbi ng'esuubizza okuzimba amakolero okuwa bannayuganda emirimu kyokka mu kiseera kino mujjuddemu masitoowa g'aobwannannyini, ennyumba ezisulwamu ng'ate ettaka eddala baalyegabanya.

Omubaka Nambooze ng'ayogera
Kuno agasseeko ekibbattaka, ebbula ly'emirimu, obwavu n'ebirala asabye Kyagulanyi okuteeka omukono ku tteeka ly'omusaala ogutandikirwako(Minimum wage bill) okusobola okuyamba bannayuganda abanyigirizibwa naddala abakola mu makolero.
Yeeyamye ku lwa bannamukono nga bwe bagenda okuwa Kyagulanyi obululu obutakka wansi wa mitwalo 30.
Kyagulanyi asinzidde wano n’atenderezza Nambooze olw’okubeera omuvumu ate anywerera ku nsonga.

Abamu ku beesimbyewo ku kkaadi ya NUP mu Mukono nga bayanjulwaayo
Akunze bannamukono okujjumbira okulonda ate n'okwewala abaali bannakibiina abataaweebwa kkaadi abalimbalimba nga bwe bali emabega we.
Kyagulanyi agumizza abawagizi be nti yadde bayita mu kunyigirizibwa ,okukubwa n'okutiisibwatiisibwa tebasaanye kuwanika.
Akulira oludda oluwabula gavumenti, Joel Ssenyonyi abakubirizza okunyweza bendera y'eggwanga n’okujjumbira okulonda.

Abamu ku bawagizi ba Kyagulanyi nga bamutonera ebirabo.
Avumiridde ekya gavumenti ya NRM okugabira bamusigansimbi ettaka ly'obwereere n'okubasonyiwa omusolo ate nedda mu kunyigiriza Bannayuganda abasasula omusolo. Oluvannyuma bano batonedde Kyagulanyi ebirabo eby'enjawulo.