Amawulire

BESIGYE: Balooya bagenda mu kkooti etaputa Ssemateeka

BANNAMATEEKA ba Dr. Kiiza Besigye ne Hajji Obed Lutale baagala kkooti y’amagye ebakkirize bagenda mu kkooti etaputa Ssemateeka okuyimiriza okuwulira emisango gino mu kkooti y’amagye  okutuusa ng’ebibuuzo bye balina  ku kkooti eno biddiddwaamu.

Besigye
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

BANNAMATEEKA ba Dr. Kiiza Besigye ne Hajji Obed Lutale baagala kkooti y’amagye ebakkirize bagenda mu kkooti etaputa Ssemateeka okuyimiriza okuwulira emisango gino mu kkooti y’amagye  okutuusa ng’ebibuuzo bye balina  ku kkooti eno biddiddwaamu.
Kino kyaddiridde kkooti okuwa ensala yaayo ng’eragira  nti Besigye ne Hajj Lutale balina okuwozesebwa mu kkooti eno kubanga ssemateeka wa UPDF abawa obuyinza mu nnyingo 208 ne 209.
Ensala ya kkooti eyasomeddwa ssentebe, Brig Gen Freeman Mugabe yagambye nti ennyingo  ezo mu mateeka ga UPDF ziwa  kkooti y’amagye olukusa okuwozesa
abantu bonna emisango ne  bwebabeera bagiddiza bweru wa ggwanga.
Wabula Earnest Kalibbala ku lwa bannamateeka abalala yagambye nti mu kkooti etaputa
ssemateeka bagenda kusaba kkooti etangaaze oba nga wadde waliwo ensala ya kkooti eyimiriza abantu baabulijjo okuwozesebwa mu kkooti y’amagye, bakyagenda mu maaso n’okuwozesa abantu wano ne beebuuza gye bajja obuyinza obwo.
Bano era baagala kkooti etapute oba Uganda erina olukusa okuwulira emisango gy’amawanga amalala oba teyeewadde buyinza butali bwayo n’ensala ya kkooti etaputa Ssemateeka ensala gye yawa ng’eyimiriza okuwozesa abantu baabulijjo ssaako eky’omuwabuzi wa kkooti mu mateeka atatuula ku lukiiko ate okubeera nga yawa okusalawo okwenkomeredde mu kkooti eno awali ne ssentebe alowoozebwa nti y’akulira kkooti y’amagye.
Lukwago agamba nti bagenda na kubuuza oba engeri munnamateeka wa Besigye, Eron Kiiza gye yakwatibwamu n’asalirwa emyezi mwenda oba yali mu mateeka mu kkooti eno.
Ensonga ezalambikiddwa bannamateeka okuli Earnest Kalibbala, Frederick Mpanga, Erias Lukwago, Ivan Bwowe n’abalala bagamba nti okusinziira ku nsala eweereddwa tesobola kugigoberera era ensonga eyo kkooti etaputa ssemateeka yokka y’erina
obuyinza okugiwulira.
Kyokka ensonga za Besigye ne Lutale zaajunguluddwa abooludda oluwaabi okwabadde Col Raphael Mugisha , Capt Ambrose Guma, Lt Gift Mubehamwe ne WO11 Anthony Phillips Olupotiri.