ABAVUBUKA abaali bakola ne Susan Kushaba abadde akulira akatale ka St. Balikuddembe akamanyiddwa nga Owino basattira olw’abantu be balumiriza okubayigganya n’okubalemesa okukola yabwe.
Bano nga bakulembeddwaamu Wilberforce Tumushabe basinzidde mu lukungaana lwa Bannawulire lwebatuuziza mu Kisenyi mu Kampala nebategeeza nti okuva eyali mukama wabwe Kushaba bweyagobwa mu Owino ku biragiro bya Pulezidenti Museveni ate nabo baatandika okukijjanyizibwa nga balumiriza nti waliwo ne bannabwe abazze bakwatibwa ab’eby’okwerinda awatali nsonga.
Abamu ku bavubuka abaali bakola ne Kushaba nga batunula binsobedde
Abavubuka babo be baali batambulanga ne Kushaba ng’era bwe batembeeta ensonga za Gen. Muhoozi nga beeyita ‘Team MK Owino’ kyokka kati basobeddwa tebamanyi oba okuwagira Muhoozi kye kibaviiriddeko okuyigganyizibwa oba nga waliwo ensonga endala.
Vio Nassaka agamba nti okumanya bayigganyiziddwa nnyo, ne offiisi mwe baakoleranga emirimu zaggalwa nga tewali muntu yenna kati akkirizibwa kuziyingiramu.

Ono agamba nti baali batandise enkola ey’okutereka ssente nga bayita mu kibiina kyabwe ekya Owino Market Youth kyokka kati abaatereka ssente zaabwe bazaagala mu biseera bya Ssekukkulu bino naye tebalina bwe bazifuna kubanga n’okusisinkana gwafuuka musango.
Bano basabye Pulezidenti Museveni ayingire mu nsonga zaabwe kubanga Kushaba bwe yava mu Owino ate n’abaali bakola naye bali ku bunkenke ddala nga tebakyasobola wadde okubaako kye bakolera mu katale.