EMMANDUSO eyavuddeko okukwata omusajja Heinrich XIII eyakulidde okuluka olukwe okuwamba gavumenti ya Germany, kwabadde kugwa mu lukwe lwe yaluse ne Russia.Abadde awandiika abajaasi b’ayagala okuyingiza mu balwanyi be ng’abaggya mu magye ga gavumenti ne poliisi. Heinrich abadde alinze kimu kuwamba bamuteekeko ng’omukulembeze wa Germany kubanga gavumenti eriko tagikkiririzaamu.
Gavumenti ekitwala nti akabinja kano keeyisa mu ngeri ya kitujju kubanga kabadde kasala amagezi nga bafuna emmundu okuyita mu bitongole bino, era egamba nti akabinja kano kabadde katende-ke abalwanyi baako be babadde baagala okukozesa nga bawamba.Bano beeyita Reichsbürger oba Reich Citizens Movement. Bak-kiriza nti gavumenti ya Germany eriwo mu bukyamu bateekwa okuddayo ku bufuzi obw’ennono obwavaawo mu 1918.Heinrich akulembera abaabadde baagala okuwamba ali mu nkomye kati, ava mu lulyo lwa Kaiser Wilhelm II eyavaako mu 1918.

Baamukutte nga mutujju era baamututte emikono giri ku mpingo, ono baamukwa-tidde wamu n’abalwanyi abalala baabadde akulembera. Musajja mukulu emyaka 71, era kigambibwa nti abadde alina akakwate kamaanyi ne Putin owa Russia nga gwe yabadde ayiseemu okuwamba.
Takoma Russia wokka, okunoonyereza kulaga nti alina akakwate n’ekibinja ekya-bawagizi ba Trump abeekalakaasa ne balumba Capitol Hill nga January 6, 2021 nga bawakanya okulondebwa kwa Joe Biden ku bwapulezidenti bwa America. Omusajja ono Heinrich ayingidde mu byafaayo by’omulembe guno, okugezaako okuwamba gavu-menti ya German abamaze mu demokulasiya emyaka kati 100. Av ,a mu luly bav o lw’a mu Heinrich Abalangira b’eVI eya- Reuss fuga German okutuuka 1197.
Omusajja ono mulangira
mutuufu kyokka Aboolulyo Olulangira baamwegaana nga bagamba nti by’akola bibasobedde. Poliisi yamukunudde mu maka ge e Frankfurt ku Lwokusatu.
Abava mu lulyo olwo bonna babawa erinnya lya Heinrich wabula Heinrich XIV omwogezi wa famireyategeezezza nti muganda waabwe ono enneeyisaaye yabatabula, yasalawo okubeekutulako era abadde atutte emyaka egisoba 10 nga yagaana okwogera naye kubanga baagana okukkiriza by’ayagala.
Yagambye nti olulyo lwabwe lugazi kubanga babaddewo emyaka egiwera 850, ab’enganda zaabwe babunye ebitundu by’ensi eby’enjawulo nga kirabika guno gwe mukisa gwe yakozesezza okukwatagana n’abo abamukkirizaamu okubunyisa endowooza ye ey’okwagala okukwata obuyinza n’eryanyi.Egimu ku misango gye bamug-guddeko alina okunnyonnyola en-kolaganaye n’abakungu ba Russia abali munda mu Germany n’abali e Russia. Gavumenti egamba nti er-udde ng’emulondoola nga balaba alina enkolagana ey’amaanyi n’abamu ku bantu be beekengera.Obujulizi bwe baafunye, bwe bubaka bwe yaweereza abakungu ba Russia ng’abasaba okumuy-ambako okuggyako gavumenti ya Germany kyokka ekibulako kwe kukakasa ab’e Russia kye baamuddamu.
Ebimu ku bye yabasaba kwe kumuwa obuyambi bw’ensimbi n’ebyokulwanyisa nga tebalina bwe babimutuusaako kwe kusala amagezi bawandiike abaserikale abali mu magye ne poliisi nga babasikiriza okubeegattako nga babapokera ensimbi okubakyusa emitima basomole emmundu za gavumenti bazikoz-ese mu kuwamba.Gavumenti ya Germany yagam-bye nti bangi abali ku lukalala beekyayigga era mu nnaku ezid-dako ebikwekweto bigenda kud-damu okubakwata. Nga baakava mu bufuzi bw’ensikirano, mu 1920 waaliwo olukwe lw’okuwamba wabula ne lugwa butaka. Oluvannyuma lw’emyaka 100 nga buli kimu kikyuse, demokulasiya anywedde kibeera kizibu nnyo okuwamba.Heinrich musajja akoze bizinen-si; yali atunda amayumba n’ettaka era n’abifunamu ssente eziwera. Okuyita mu bizinensi ezo kyamuy-amba okukwatagaana n’abagagga okuli n’abagwira bannansi ba Rus-sia abaayagala okusiga ensimbi mu Germany.Guno gwe mukisa gwe yakoz-esa okubanjulira enteekateeka ze endala ne batandika okuk-watagana kyokka ne gavumenti ng’ebalinnya kagere. Abamu ku babadde mu lukwe yabakwatidde Yitale ne Austria