Bannannyini ttaka omudumu gw'amafuta wegugenda okuyita bagenda kuliyirirwa ssente zaabwe mu bujjuvu

AKULIRA Pulojekiti y'okuzimba Omudumu gw'Amafuta oguva e Hoima okugenda e Tanganyika mu Tanzania eya East African Crude Oil Pipeline Company Limited,Martin Tiffen agummizza Bannanyini Ttaka mu bitundu ewagenda okuyita omudumu guno nti baakusasulwa mu budde era baweebwe ensimbi ezo zennyini ezija mu Ttaka lyabwe.     

Amafuta
By James Magala
Journalists @New Vision
AKULIRA Pulojekiti y'okuzimba Omudumu gw'Amafuta oguva e Hoima okugenda e Tanganyika mu Tanzania eya East African Crude Oil Pipeline Company Limited,Martin Tiffen agummizza Bannanyini Ttaka mu bitundu ewagenda okuyita omudumu guno nti baakusasulwa mu budde era baweebwe ensimbi ezo zennyini ezija mu Ttaka lyabwe.
 
Bino Tiffen abyogeredde mu kibuga Kampala bwe babadde bassa omukono ku Ndagaano gyebakoze n'Abapunta abeegattira mu kibiina ki Institution of Surveyors Uganda egendereddwamu okubanguyiza omulimo gw'okufuna n'okusasula Bannanyini Ttaka mu bitundu awagenda okuyita omudumo guno.
 
Mafuta 3

Mafuta 3

Tiffen agambye nti baliko Bannanyini Ttaka abawerako bebamaze okusasula nti era bakyalina n'abalala bangi abateekwa okusasula n'ategeeza nti endagaano gyebakoza n'Abapunta ya kubayamba okuzuula Bannanyini Ttaka abatuufu basobole okubasasula olwo kisobozese omulimo gw'okuzimba omudumu gw'Amafuta okutandika mu budde.
 
Mu ngeri y'emu ono agamba endagaano eno yakwongera n'okuyamba e Ggwanga okufuna abasaveya ab'omutindo gwennyini ogwetaagisa okupunta ettaka  kiyambeko okumalawo endoliito olw'abantu ababadde befuula Bannanyini Ttaka nga baagala okuliyirirwa oluusi ekikeereya Pulojekiti za Gavumenti.
 
Bo Abapunta nga bakulembeddwamu Pulezidenti waabwe Dr.Nathan Kibwami bategeezza nti basazeewo okukolagana ne East African Crude Oil Pipeline limited okusobozesa omulimo gw'okuzimba omudumo gw'Amafuta okutambula obulungi nga beyamye okweyambisa obukugu bwabwe okupunta ettaka mu bitundu yonna omudumo guno gyegugenda okuyita.
 
Dr.Kibwami ayongeddeko nti Abapunta tebalina Kkobaane lyonna kufiiriza Bannanyini Ttaka kyokka n'asaba aba Famile ababeera balina ettaka mu bifo ewaba wagenda okuyita Pulojekita za Gavumenti okwewala okulwanagana ekiyinza