Bya Ssenabulya Baagalayina
EYALIKO Meeya wa Lukaya Town Council mu Kalungu, Gerald Majera Ssennyondo akuddaalidde b'agambye abamumma obululu mu kulonda kwa 2021 nga beekwasa nti teyasoma.
Bano abagambye nti Oluzungu alumanyi nnyo nti era alwogerera n'okulukozesa we lwetaagisirizza.
Anokoddeyo ebbanga lye yamala ng'akola mu offiisi ya Coffee Marketing Board ng'abamusisinkanamu mw'abangamu n'abatoogera Luganda n'awuliziganya nabo mu Lungereza.

Eyaliko Meeya Gerald Ssennyondo Kikyamu N'abamu Ku Bannalukaya
Abagattiddeko ng'ajjuliza ekifaanayi ekyalabikidde mu lupapula lwa Bukedde mwe baamulagidde ng'akutte omugenzi Pere mu ngalo nti olwo yamulamusa mu Luganda?
Bino Ssennyondo abyatulidde Bannalukaya ku Royal Embassy Guest House n'agamba nti ab'e Kampala bamukazaako lya Obua ate ab'e Lukaya ne bamubatiza lya Kikyamu.
Ssennyondo akubirizza abaabaddewo nti "mwagalenga Gavumenti eriwo ebatuuse ku gye mwagala era mugonderenga omukulembeze ali mu buyinza abatuuse kw'oyo gwe mwagala", noolwekyo temwetebanga mu bikolwa by'okwelakaasa.
Ssennyondo aweze nga bw'atajja kwetaba mu bukuundi bw'abagunjawo ebiwayi by'abawagizi by'abakulembeze ababeera beesimbyewo kuba buli omu wa mugaso mu ngeri ze.
N'agamba nti mu kiseera kino balina kukolagana n'abo abaawangula okutuusa ekisanja kyabwe bwe kiriggwako olwo balowooze mu biddako.