Ebbaluwa esiima emirimu gya Fr. Ndawula gy'akoze mu myaka 25 okuva lwe yafuna Obusaasordooti ng'eteekeddwako omukono gw’omubaka wa Paapa mu Uganda, Ssaabasumba Luigi Bianco yakwasiddwa omujaguza okuva ewa vviika jjenero w’essaza ly’e Lugazi, Msgr. Richard Kayondo mu mmisa y’ebikujjuko ku Lwomukaaga e Naggalama ku kigo.
Fr. Ndawula mutabani wa Imelda Nabukeera ow’e Bukeerere mu munisipaali y’e Mukono n’omugenzi Joseph Lubyayi.
Enteekateeka zaatandise na mmisa eyakulembeddwa omujaguza, Fr. Ndawula yennyini era nga ye bwanamukulu w'ekigo ky'e Naggalama, ng'abasumba okuli ow'e Lugazi, Bp. Christopher Kakooza n'omuwummuze, Rtd. Bp. Mathias Ssekamanya nabo beetabye mu mmisa eno.
Fr. Pele Wasswa, ng'ono naye aweereza ne Fr. Ndawula mu kigo ky’e Naggalama era nga yamusomesaako y'ayigirizza mu mmisa n'ategeeza nti ono ebbanga lyonna abadde mwetowaze era omuwulize eri abasumba abamutwala.
Yategeezezza nti ono ne bwe yafuna emikisa eby'enjawulo okugenda okusomera ebweru w'eggwanga ne bamusaba asigaleyo olwo okukomawo e Uganda abe ng’akikola nga mulambuzi era teyakikola nga yakomawo okwaboobo n'agenda mu maaso n'obuweereza ng’asumba endiga za Kristu.

Bp. Ssekamanya yayozaayozezza Fr. Ndawula olw’okutuuka ku kkula lino n'amusiima olw'ebyo by'akoze omuli n'okuwandiika ebitabo by'eddiini eby'enjawulo omuli ne katikiisimu.
Fr. Emmanuel Mukasa eyasoma ne Fr. Ndawula ng'ono ye asomesa mu sseminaaliyo e Nyenga yamwogeddeko n’agamba nti okuviira ddala mu buto yalina ebitone ate ng'abikozesezza era y'ensonga lwaki afuuse ekyo kyali olwaleero.
“Fr. Ndawula yali musambi wa mupiira mulungi ate ng’alina omukwano eri abalala. Mukozi ateebalira era eyo y’ensonga lwaki asobodde okufuuka ky’ali leero,” Fr. Mukasa bwe yagambye.
Mugema Dodoviiko, ssaabasomesa wa ddinale y’e Naggalama naye yasiimye Fr. Ndawula olw'omulimu gw'abakozeemu kuba okusomesa abasomesa ba Klezia gwe gumu ku mirimu gy'akola. Fr. Ndawula mu kwogerako naye yasiimye omukisa Paapa Francis gwe yamuweerezza.
Yagambye nti alina obuweereza obuwerako obuwerako n'agamba nti mu kwagala okubutuukiriza, olumu abulwa n'obudde obuwummula ng’omuntu.