Poliisi e Nansana eggalidde abantu 11 abakakiiko ka Sacco ya bamakanika mu munisipaali ye Nansana abakulembeddwamu ssentebe waabwe kassim kasasa ku byekuusa ku kubulankanya ssente ezisoba mu bukadde 200 ez'awebwayo Pulezidenti Museveni okulakulanya bamakanika mu kitundu kino.

Kisakyamukama ng'ayogera mu lukiiko
Bano okukwatibwa kyadiridde okukunyizibwa omuyambi wa pulezidenti kunsonga z'okulondoola pulojekiti za gavumenti Yiga Kisakyamukama kungeri gyebezibikamu ssente ez'alina okuyamba bamakanika bonna okwekulakulanya.
kigambibwa nti ssente zino zezaviirako neyali omuwandiisi w'a Sacco eno Joseph Kiguli okwetuga nga agamba nti banne bamuwubisa ne baggyayo ssente mu bbanka kyokka ne bazezibika nga mu kuzisasula naye yali avunanyizibwako.

Abakwate nga bateekebwa ku bangali ya poliisi
ye Kassim Kasasa amanyiddwa nga owa bataasoma wakati mu kwewozaako yategeezezza nga bwatawereddwa mukisa kubaako kyanyonyola kyokka nakiriza nti ssente ezimu yazikozesa mu kuddabiriza emotooka ze ekintu ekyali kimenya amateeka.
Wano Kisakyamukama weyasinzidde n'alabula bonna abalowooza okuzanyira mu ssente za gavumenti nti bakukwatibwa era ne bintu byabwe bitundibwe kunyondo okulaba nga ssente ziganyula abantu abatuufu