Amawulire

Sheikh Mufti  Muhammad Galabuzi asabye ba Imaam ne bamaseeka okwewala obubaka obw'obukyayi

Sheikh Mufti  Muhammad Galabuzi asabye ba Imaam ne bamaseeka okwewala obubaka obw'obukyayi

Sheikh Kiweewa nga ayogera eri abetabye mu musomo
By: Huzaima Kaweesa, Journalist @New Vision

UPREME Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi, akuutidde Bamaseeka ne ba Imam okwewala obubaka obw’obukyayi  nga babuulira kubanga buno bwongera kutabangula bantu n'okubakyayisa eddiini.
Bino Galabuzi yabyogeredde ku muzikiti e Kibuli bweyabadde yeetabye mu musomo gwa Daawa ogwategekeddwa nga gwetabiddwamu bamaseeka ne ba Imam okuva mu bitundu eby’enjawulo.
Galabuzi yasabye bamaseeka okukomya omuze gw’okuwa obubaka obusiga obukyayi nga babuulira nga kino kirabikidde nnyo ku bubaka bwebatera okuwa nga bakozesa emitimbagano ky’agamba nti kino kireetawo obukyayi mu bantu.
Awabudde nti bamaseeka balina okukimanya nti balina okukolagana obulungi n’abantu bonna nga kino kiyambira wamu nebwebeera nkulaakulana.

supreme Mufti Galabuzi ku kkono nga atuuka e Kibuli

supreme Mufti Galabuzi ku kkono nga atuuka e Kibuli


Kyokka abajjukizza  nti omukulembeze yenna abeera ssomero nga buli amutunulira abeera alina ekirungi ky’alina okumwegombako n’abasaba bakuume empisa n’obuntubulamu.
Akulira Sharia, Sheikh Abdul Hafiz Walusimbi bw’abadde abuulira asabye bamaseeka bulijjo okusooka okukolanga okunoonyereza ku byebagenda okubuulirako kibayambeko okubatangira okubuulira obubaka obusiga obukyayi mu bantu.
Akulira Daawa mu Uganda, Sheikh Yasin Kiweewa ategezezza nga bwebagenda okutandika okutambuza emisomo gino mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga babangula ba Imam ne Bamaseeka okukakasa nga batuukana n’omutindo.
Kyokka abasabye okwettaniranga okukola bewale okusabiriza kubanga kino kisiiga ekifaananyi ekibi eri Obusiraamu.