SSENTEBE w’abaana babalwanyi era nga yaliko ssentebe wa NRM mu ggombolola ye Masuliita e Wakiso, Muwada Namwanja akukkulumidde abaddukanya ekibiina kya NRM olw’engeri gyebegabanyamu ssente kyokka nga mu bitundu gyebalwanira okweddiza obuyinza nga biri mumbeera mbi.
Namwanja yasinzidde Masuliira mu lukungaana lwa bannamawulire n'agamba nti kyewunyisa okuba ng’ababaka balondebwa kukiikirira bantu kyokka ate bbo bwebatuuka eri Pulezidenti Museveni batusaayo bizibu byabwe.
Ono okuvaayo kiddiridde Pulezidenti Museveni okuvaayo n’agabira ababaka ba NRM obukadde 100 buli omu bwe baabadde mulusirika e Kyankwanzi ekintu ekyatabudde abantu bangi era nebewunya engeri ababaka gye batunulidde ssente zokka okusinga okuwereza abantu.
“Ssente Pulezidenti Museveni ababaka zebamukabira okubawa bandibadde bazikaabira kuzimbamu bintu biyamba bantu nga malwaliro, masomero. Amakolero nebintu ebirara ebikulakulanya abantu sso si okwekulakulanya bokka.” Muwada bweyayongeddeko.

Muwada Namwanja asangiddwa mu maka gwe
Yagambye nti kyewunyisa okuba nga ssente zitambula mu bantu sekinoomu kyokka ng’ekibiina tekirina wadde ekitebe mu myaka 40 gye kimaze mubuyinza naye ng’abesimbawo ku kaadi ya NRM bbbo bagabana ebisawo bya ssente ewatali nakubakuba ku mikono.
Namwanja yennyamidde olw’engeri ya ssente gye ziyitingana mu paalamenti eri ababaka naddala nga waliwo ekyetagisa okuyisaawo kye yagambye nti bangi kati kibagazisizza okugenda mu paalamenti nga tebagenze kukikirira bantu wabula kugaggawalirayo.
Yalaze n’ekyokulabirako kya ssente ezaayitingana mukiseera kya kamyufu ka NRM kyokka ate akalulu bwekaggwa nebagenda ewa Pulezidenti Museveni nga bamulajanira abaddukirire nti akakulu kabakamudde.
Namwanja era agamba nti bbo ng’abantu abawangalira mubifo olutalo gye rwayindira, tebalina kye bafunye mu Gavumenti gye baareeta mubuyinza era nga bw’otuuka mubitundu nga Masuliita, Namayumba, Kakiri newalala, amalwaliro gali mumbeera mbi sso nga nebitundu byabwe abaana balemeddwa okufuna emirimu.
Yasabye Pulezidenti Museveni mukifo ky’okupokera ababaka ssente, ajjukire ebifo mweyalwanira abereko engeri gy’abayamba mungeri y’okubaterawo amakolero, amasomero ag’omulembe, amalwaliro agawerako nebirara olwo basigale nga bamwenyumirizaamu.