Amawulire

Omwana omuwala ow'emyaka etaano atomeddwa pikipiki e Rukungiri n'afa

Omwana omuwala ow'emyaka etaano atomeddwa pikipiki e Rukungiri n'afa

Omwana omuwala ow'emyaka etaano atomeddwa pikipiki e Rukungiri n'afa
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omwana omuwala ow'emyaka etaano atomeddwa pikipiki e Rukungiri n'afa. 

Flavian Atwine 5 gwe batomeredde mu Kibarama cell mu kabuga k'e Bikurungu mu Ggombolola y'e Rujumbura ku Kihihi Rd e Rukungiri, pikipiki okubadde ebidomola by'amata. 

Pikipiki nnamba UGD 314F bajaaj Boxer ng'avugibwa Isaac Kanyesigye era nga kigambibwa nti ebidomola ebibadde ebisibe ku pikipiki eyo, bye bikoonye omwana abadde atambulira ku mabbali g'oluguudo ne nnyina, n'atwalibwa mu ddwaaliro e Bikurungu town n'afa. 

Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Elly Maate, agambye nti omuvuzi wa pikipiki bamukutte olwokuvugisa obulagajjavu n'akola a kabenje