Amawulire

Agambibwa okuganza omwana w'essomero n'amukuumira mu kazigo poliisi emukutte

Poliisi ekutte omuvuzi wa boda boda agambibwa okuganza omwana w'essomero okumala ekiseera ng'amukuumira mu kazigo ke.Agambibwa okuganza omwana w'essomero n'amukuumira mu kazigo poliisi emukutte 

Agambibwa okuganza omwana w'essomero n'amukuumira mu kazigo poliisi emukutte
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi ekutte omuvuzi wa boda boda agambibwa okuganza omwana w'essomero okumala ekiseera ng'amukuumira mu kazigo ke. 

Eriabu Mpaata ow'e Kigoogwa mu Ggombolola y'e Ggombe ku luguudo lw'e Bombo mu munisipaali y'e Nansana mu Wakiso, y'akuumirwa ku poliisi e Matugga nga kigambibwa nti bamukutte lubona n'omwana w'essomero owa siniya Eyokuna. 

Kigambibwa nti omuwala ono asomera Buwambo era nga yasangiddwa owebyokwerinda n'abatuuze mu kazigo ka Mpaata nga bali mu Kikolwa mu kiseera weyaliberedde ku ssomero. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala agambye nti bamuguddeko omusango gw'okujjula ebitannaggya era okubuuliriza kugenda mu maaso.