Amawulire

Omwana ow'emyaka 4 agudde mu ssefuliya ya caayi ku ssomero n'amwokya n'afiira mu ddwaaliro e Kiruddu

EKIKANGABWA kigudde e Kawanda , omwana ow'emyaka 4 bw'agudde mu ssufuliya ya ccaayi ku ssomero, n'amwokya, n'afiira mu ddwaaliro e Kiruddu.

Omwana ow'emyaka 4 agudde mu ssefuliya ya caayi ku ssomero n'amwokya n'afiira mu ddwaaliro e Kiruddu
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

EKIKANGABWA kigudde e Kawanda , omwana ow'emyaka 4 bw'agudde mu ssufuliya ya ccaayi ku ssomero, n'amwokya, n'afiira mu ddwaaliro e Kiruddu.

Bino,kigambibwa nti bibadde ku ssomero lya Spotless Kindergarten mu Kivvulu e  Kawanda mu division y'e Kawempe , omwana abadde asoma mu middle class,bw'agudde mu mazzi agookya aga caayi n'amwokya yenna.

Kigambibwa nti amazzi, gabadde mu kibiina nga bategeka kubagabira ccaayi n'ebyokunywerako . Atwaliddwa mu ddwaaliro e Kiruddu gy'afiiridde .

Poliisi, ekutte nnyini ssomero lino, Elizabeth Aluku ayambeko mu kunoonyereza oba nga ddala, wabaddewo obulagajjavu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, alabudde abantu ababeera n'abaana abato, okwongera okubakuuma.