ABANTU 7 abagambibwa okwenyigira mu kutta omusuubuzi e Bushenyi omulambo gwe ne bagukumako omuliro, poliisi e bakutte.
Omusuubuzi attiddwa ye Abias Asiimwe 57 ng'abadde mutuuze w'e Kashenyi e Kyandago Ishaka e Bushenyi era ng'omulambo gwe, guzuuliddwa mu siringi mu loogi ya Abber bar and lodges.
Poliisi ekutte abantu okuli Clinton Ayikiriza ng'ono mupangisa ku mayumba g'omugenzi, Bridget Namusisi, Hellen Keminyeto, Edger Twinamasiko , Sharon Ninsiima n'abalala .
Kigambibwa nti ono, yasembye okulabibwako ku wiikendi ng'ava mu kabuga k'e Kashenyi okugenda ku loogi eyo , kyokka kwe kuzuula omulambo mu siringi.
Omwogezi wa poliisi mu Greater Bushenyi, Apollo Tayebwa, n'omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, bagambye nti embwa ebayambye okuzuula abantu bano, ekiso ekigambibwa okukozesebwa n'akadomola omwabadde petrol