POLIISI etaddewo essimu 1,275 ku mugukkiriro ku station ez'enjawulo okwetoloola eggwanga lyonna, abantu kwe banakubanga okuloopa emisango.
Poliisi eragidde abavunaanyizibwa ku poliisi n'omuntu wa bulijjo awamu n'aboogezi ba poliisi mu bitundu ebyeggwanga, okugabira abantu ennamba zino, ziyambeko mu kuloopa obumenyi bw'amateeka.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti kino kikoleddwa okwongera okunyweza ebyokwerinda nga boongera ku ezo ezibaddewo abantu kwe babadde bakuba.
Agasseeko nti ennamba zino, zissiddwa ku poliisi z'amagombolola okwetoloola eggwanga lyonna.
Zissiddwa ku mikutu n'emitimbagano gya poliisi egyenjawulo, abantu kwe banazirabira bazeyambise