POLIISI evuddeyo n'erabula ku bwegugungo mu masomero obweyongedde, abayizi mwe boonoonedde ebintu ebiwerako n'okulumya abalala.
Kidiridde abayizi ba Kumi technical School okwekumamu ogutaaka ne boonoona ebintu by'essomero nga bawakanya eky'okubawa emmere entono.
Akegugungu, kabaddewo wiiki ewedde abayizi ne boonoona ebintu omuli komputa 14, ebibajje, enzigi n'ebintu bya ofiisi ebirala kyokka poliisi n'ebakakkanya.
Mu ngeri y'emu era abayizi Mburo SS e Kanyaheru e Kiruhura nabo beekalakaasizza ne boonena ebintu by'essomero n'ebyabasuubuzi abaliranyeewo.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, asabye abaddukanya amasomero okukola nga amangu ku nsonga z'abayizi n'okwekengera nga obubonero obusookawo, ng'abayizi tebannenyigira mu bikolwa ebyo